Gavt. yaakubangula abantu ku bufere bw’oku mitimbagano

Gavt. yaakubangula abantu ku bufere bw’oku mitimbagano

Mangeni
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

LIPOOTA ya poliisi ey’omwaka 2024, yalaga nga waliwo okweyongera kw’okuferebwa kw’abantu okuyita ku mitimbagano mu Uganda era ssente za Uganda obuwumbi obusoba mu bubiri (2.125 b) zabbibwa ng’ezaasobola okununulwa zaali obukadde 420 zokka.
N’okutuusa leero ekizibu ky’okufera abantu okuyita ku mitimbagano kyeyongedde nga
Bannayuganda beemulugunya buli lunaku.
Abamu bazze bababba okuyitira mu bbanka, mobile money n’ebirala ng’abafere bakozesa obutamanya obukyali mu Bannayuganda. Mu mu kaweefube w’okutaasa Bannayuganda ku bufere buno, Gavumenti ng’eyita mu kitongole kyayo ekivunaanyizibwa ku bikwata ku bantu eby’ekusifu ekya National Information Technology Authority Uganda (NITA-U) wamu ne Personal Data Protection Offi ce  (PDPO) batongozza kampeyini etuumiddwa ‘Beera ku Guard  offl ine and Online’, mwe bagenda okukulungula emyezi mukaaga, nga basomesa Bannayuganda bwe basobola okukozesa tekinologiya nga tebakosezza n’okutebuka obukodyo bw’abafere. Baakukikola okuyita ku mikutu gy’amawulire
n’emisomo egy’enjawulo.
Arnold Mangeni dayirekita wa nformation Security, aliko obukodyo bw’awadde abantu mu ngeri y’okutegeeramu obufere bw’ekika kino okuli obutamala gakkiririza mu bintu bibagambirwa ku masimu abantu be batamanyi, abazadde okukomya okulalaasa ebikwata ku baana baabwe n’ebirala