ABAWAGIZI b'ekibiina kya National Unity Platform 5 , bakwatiddwa ne babaggalira ku bigambibwa nti benyigidde mu kukola efujjo n'okulwana.
Abakwatiddwa, bonna bagambibwa okuba abawagizi b'omu ku besimbyewo ku kifo kya Lord Meeya ku kaada ya NUP mu Kampala, Eng . Ronald Balimwezo Nsubuga .
Abakwatiddwa, kuliko Yasin Nyanzi, Tonny Kaweesa, Sharif Lukenge, James Nsubuga, ne Mukisa Mwodha ku misango egyenjawulo.
Okukwatibwa, kyadiridde abawagizi ba Eng Balimwezo, abaabadde boolekera ekitebe kya NUP e Makerere Kavule ng'ava okwewandiisa eggulo, okusisinkana abawagizi b'omuyimbi Alien Skin ne bubeefuka.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti wakati mu kulwanagana n'okukasuukirira poliisi amayinja, baabakubyemu omukka ogubalagala era okukakkana nga bakutteko Bataano