Kkampuni ezibadde zeekebejja omutindo gw’emmotoka nga tezinnatikkibwa ku mmeeri ziyimiriziddwa

Nov 19, 2024

ABAYINGIZA mmotoka okuva wabweru w’eggwanga basobeddwa olw’ezimu ku kkampuni ezibadde zeekebejja omutindo gw’emmotoka nga tezinnatikkibwa ku mmeeri okuyimirizibwa.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAYINGIZA mmotoka okuva wabweru w’eggwanga basobeddwa olw’ezimu ku kkampuni ezibadde zeekebejja omutindo gw’emmotoka nga tezinnatikkibwa ku mmeeri okuyimirizibwa.

Ekitongole kya UNBS kyapatana kkampuni ssatu okukola omulimu guno mu mawanga ag’enjawulo mmotoka gye zigulibwa wabula ebbiri zaayimiriziddwa olw’emisango egyaziwawaabirwa ku ngeri gye zaafunamu kontulakiti.

Marvin Ayebale, omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ba mmotoka mu ggwanga ekya Associated Motor Dealers -2015 yagambye nti kkampuni emu eyalekeddwaawo tesobola kukola ku mmotoka zonna eziva wabweru w’eggwanga.

Malik Azhar ssentebe w’ekiwayi ky’abasuubuzi b’emmotoka ekya Delight used car dealers association mu bbaluwa gye yawandiikidde akulira ekitongole kya UNBS, yalaze obutali bumativu ku ngeri gye baayimirizza kkampuni endala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});