Ab’akatale k’e Kasubi balaajana lwa bufunda bwa kifo

May 08, 2025

ABASUUBUZI mu katale e Kasubi bakukkulumidde Gavumenti olw’okubasuubiza okugaziya akatale kaabwe n’etakikola kati emyaka ena.

NewVision Reporter
@NewVision

ABASUUBUZI mu katale e Kasubi bakukkulumidde Gavumenti olw’okubasuubiza okugaziya akatale kaabwe n’etakikola kati emyaka ena.
Nga bakulembeddwa omwogezi waabwe, Hussein Ddibya,  baategeezezza nti mu 2020 bwe baali bava mu kifo we baali bakolera, baasuubizibwa okubafunira ekifo ekigaziko, kwe kukkiriza okusooka okukolera mu kafo akafunda akeesudde ekkubo we
baabalagira okudda.
Yagambye bakkaanya ne KCCA okuva okumpi n’oluguudo we  baali bakolera, kyokka kyewuuniysa nti ate waliwo abasuubuzi abakeera okukolera ku luguudo okuva ku ssaawa 12:00 ez’oku makya okutuuka ku 3:00, ekiremesa abakolera mu katale
okufunamu.
Ekirala ekiruma abasuubuzi kwe kuba nti akatale kafunda ng’abasuubuzi abamu emmaali bagitundira mu nkuubo.
Abasuubuzi abawera 1,000 abaali bakolera ku luguudo tebaafuna midaala, kubanga Gavumenti yali esuubizza okugaziya akatale ky’etaakola.
Ekizibu ekirala kya butaba na paakingi, abasuubuzi we basobola okutikkulira emmaali
yaabwe ekyongedde omugotteko n’okufi irizibwa nga n’abaguzi abalina emmotoka batya okuyingira olw’obutaba na paakingi.
Beemulugunya ne ku kkubo eriyingira akatale lye bagambye nti lijjudde ebinnya. Bagamba nti kino kireetedde bbeeyi kwe batundira ebintu okulinnya kubanga abasuubuzi batikkulira wabweru w’akatale ate ne bafuna zi ttukutuku oba boodaboda
ezibiyingiza munda.
Ssentebe w’abasuubuzi Ronald Zzibu yategeezezza nti bawandiikidde abakulembeze ebbaluwa eziwera ku mitendera gyonna ku by’okugaziya akatale naye tebafunye kuddibwamu. Ssaalongo Kazibwe ng’atunda byennyanja agamba nti akatale
tekalina wadde akabonero akalaga nti waliwo ebitundibwa, n’asaba kassibwewo.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuweabine agumizza abasuubuzi b’omu katale n’ategeeza
nti enteekateeka y’okukagaziya weeri kuba nabo bakimanyi nti we bali wafunda. Yagambye nti wadde pulaani weer, ensimbi tezinnafunika n’abasaba okuba abakkakkamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});