Okusinziira ku kitongole kya Global Entrepreneurship Monitor (GEM), Uganda y’emu ku nsi ezisingamu bannansi abakola bizinensi ez’enjawulo. Alipoota eno eraga nti Bannayuganda ebitundu 30% batandikawo bizinensi buli mwaka wabula ezisinga obungi zigwa.
Kino nno kyatanula abasomesa ku Uganda Martyrs University (UMU) e Nkozi okunoonyereza ebivaako bizinensi okugwa era ne bazuula nti obusonga obutonotono abantu bwe babuusa amaaso bwe buvaako kanaaluzaala.

Abawandisi okuva ku kkono Cyprian Sebaggala,Josephine Namugumya,Sr Marie Nakitende ne Dr Jacinta Bwegyeme
Bye baazudde baabitadde mu kitabo ekyatuumiddwa; The Silent Noise in Business Management nga kino kiraga obusonga bannannyini bizinensi n’abakozi abazikulira bwe babuusa amaaso kyokka gye biggweera nga bukosezza oba okusuula bizinensi entono n’ezaamaanyi.
Okugeza; obadde okimanyi nti abakozi abamu bwe baggwaamu amaanyi ate bayinza okwonoona bannaabwe olwo bonna ne battattana emirimu okukkakkana nga bagobye bakasitoma?
Ekitabo kino kikulaga engeri gy’oyinza okulaba abakozi abali mu kwonoona bannaabwe n’engeri gy’oyinza okubakwatamu n’otatta bizinensi.
Era mu ssuula omwenda eziri mu kitabo kino, abawandiisi bawa amagezi ku ngeri ki gy’oyinza okuvvuunuka amabanja, okuzza bakasitoma, okulinnyisa omutindo n’enkozesa ya tekinologiya okutumbula bizinensi yo.
Ekitabo kyatongozeddwa ku Lwokusatu nga November 20 ku yunivaasite e Nkozi nga Dr. Peter Wanyama Obanda okuva ku Kyambogo University ye yakulembedde omukolo ng’ayambibwako akulira yunivaasite y’e Nkozi, Pulof. Patrick Kyamanywa n’omumyuka we Fr. Rev. Dr. Christopher Mukiidi. Abayizi abasoba mu 300 abasoma ebyobusuubuzi nabo baabaddewo.

Abamu ku bayizi abaabaddewo
Abawandiisi kuliko; Associate Pulof. Mary Maurice Nalwoga Mukokoma, Cyprian Sebaggala, Caroline Andiru, Robert Mwebesa, Sr. Marie Goretti Nakitende, Dr. Jacinta K. Bwegyeme ne Josephine Namugumya. Abalala kuliko; Benjamin Byarugaba, Manasseh Tumuhimbise ne Jane Florence Amoding. Baayambiddwako Assoc. Pulof. Jimmy Spire Ssentongo ne Pulof. Joseph M. Ntayi okuva ku Makerere University Business School (MUBS).
“Akatabo kano kaakuyamba buli omu okuva ku bayizi, abalina bizinensi n’abasuubira okuzitandika, abakozi n’abasomesa b’ebyobusuubuzi. Tusuubira okukavvuunula mu nnimi ez’enjawulo,” Cyprian Sebaggala bwe yagambye