Abakozi ba Bukedde TV bacamudde abantu nga babayamba okubajjulizaako akakonge k’okuwangula Gabula Ssekukkulu Sadida.

Ab'e Wandegeya Nga Bajjuza Akakonge,.
ABAKOZI ba Bukedde TV abakola pulogulaamu Akayisanyo okuli DJ Shiru, Bruno Betty ne Tica Tica Kawuki bacamudde abantu nga babayambako okubajjuliza akakonge ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ basobole okwetaba mu kazannyo k’okuwangula ebirabo ebyasiddwawo.

Tica Tica Kawuki Ng'ali N'omukyala Gwe Yayambyeko Okujjuza Akakonge.
Gabula Ssekukkulu w’omwaka guno awagiddwa Dura Motors, abakuleetera ppikipiki ekika kya Senke ne Tuk Tuk Zongshen era abaawaddeyo Tuk Tuk ez’okuwangulwa, Uga Chick abaawaddeyo enkoko kabeddwa ey’abawanguzi gye bagenda okufumba ku ssekukkulu , Governors Hotel Ltd e Mukono bano baakusuza abawanguzi bataano n’abaagalwa baabwe ebiro bibiri mu wooteeri eno ey’omulembe.

Abajjuza Akakonge Nga Bafiirawo Okufuna Nabo Kye Bawangula.
Ku Mmande, Vision group, yasabuukuludde ekipande ekinene oba giyite ‘Billboard’ e Wandegeya. Pulogulaamu ya Kayisanyo yakoleddwa layivu okusinziira e Wandegeya ng’abantu ebigenda mu maaso babiraba butereevu ku kipande kyaffe kino ggaggadde.
Abantu okuva mu bitundu okuli Makerere, Mulago, Katanga, Wandegeya n’ebirala baakung’aanye era ne beetaba mu kujjuza akakonge bawangule nga bakira bayambibwako abakozi ba Bukedde bano ssako MC Maswanku Katayira wa Bukedde.

Dj Shiru Ne Bruno Betty Nga Bayambako Abantu Okujjuza Akakonge.
Bano baasanyuse era obwedda bwe bamala okujjuza obukonge nga bapoozinga basooke bafune omukisa gw’okwekubisa ebifaananyi ne bassereebu baabwe nga bwe balinda ate omukisa gw’okuwangula ebirabo ebiri ku bukonge bwe bajjuza.
Okuwangula okola kimu ogula olupapula lwa Bukedde ku 1000/- lwokka n’ojjuza akakonge akali ku muko ogw’okubiri oluvannyuma n’okatwala ku ofiisi za Vision Group efulumya ne Bukedde mu Industrial Area oba okukawa omu ku batunda amawulire gaffe n’akatutuusaako.