Engeri asikari gye yabuze n’obukadde 1,000

Nov 27, 2024

POLIISI eyongedde amaanyi mu muyiggo gwa Askari w’ekitongole ky’abakuumi eyaluse pulaani ne munne ne babba ssente z’abandi ezisoba mu kawumbi (1,122,973,800/-) ze baabawadde okutambuza mu mmotoka.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI eyongedde amaanyi mu muyiggo gwa Askari w’ekitongole ky’abakuumi eyaluse pulaani ne munne ne babba ssente z’abandi ezisoba mu kawumbi (1,122,973,800/-) ze baabawadde okutambuza mu mmotoka.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yannyonnyodde nti, ababbye ssente ba Asikaali ba kkampuni ya G4S ababadde batambulira mu mmotoka nnamba UAJ 199T era nga babadde bawerekera ssente 1,122,973,800 okuva e Lubowa okuzitwala e Nakasero wabula mmotoka ne bagitwala mu kkubo eddala ssente ne bazigabana ne bagireka ku kkubo poliisi we yagisanze.
Yagambye nti mmotoka eno yasangiddwa ku mabbali  g’oluguudo lwa Nabunya e Lubaga ng’abakuumi ababadde balina okuwerekera ssente emmundu  zaabwe bazireseewo, poliisi ya Old Kampala n’eyingiza omusango n’etandika okunoonyereza
okusobola okubazuula.
Poliisi yatuukiridde abakulira kkampuni ya G4S ne bawaayo,  amannya g’abakuumi ababadde bawerekera ssente zino okwabadde  Ambrose Richard Otim era ne bawaayo n’ebimukwatako byonna n’ekitundu gy’asibuka
OMUKUUMI OTIM POLIISI EMUKUKUNUDDE GY’ABADDE NE  BAMUSANGA N’OMUNYAGO
Owoyesigyire yagambye nti, abaserikale olwafunye ebikwata ku Otim ebyabaweereddwa bakama be, baagenze mu disitulikiti y’e Kwania ekisangibwa mu Lango gy’abadde yeekukumye oluvannyuma lw’okubba ssente
n’akwatibwa n’akomezebwawo
e Kampala.
Yagambye nti, mu kukwata Otim abaserikale baamusanze n’obukadde 177 ezimu kw’ezo ze yabadde agabanye ne banne abalala babiri era n’ayogera engeri gye baaluseemu olukwe n’okubba ssente zino. Kigambibwa nti, Otim banne be yabadde nabo mu kkobaane ly’okubba ssente zino beemuludde nga kiteeberezebwa nti, omu ku bo yaddukidde mu South Sudan wabula nga poliisi ekyabanoonya okusobola okubakwata n’okwongera okufuna ebibakwatako. Mmotoka gye babbyeemu
ssente yatwaliddwa ku poliisi ya Old Kampala nga ne Otim gya’kuumirwa u kadukulu
ngókunoonyereza bwe kugenda mu maaso

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});