Maama Nnaabagereka  akubirizza okutumbula abakyala n'abaana ab'obuwala

Nnabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda Luswata akubirizza Bannayuganda mu biti ebyenjawulo omuli abakulembeze ku mitendera gyonna n’abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu okusiga ensimbi mu bakyala n’abaana abawala.  

Nnaabagereka Sylivia Nagginda ng'ali mu lukungaana lw'abakyala
By Ritah Mukasa
Journalists @New Vision

Nnabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda Luswata akubirizza Bannayuganda mu biti ebyenjawulo omuli abakulembeze ku mitendera gyonna n’abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu okusiga ensimbi mu bakyala n’abaana abawala.

Nnabagereka agamba nti okutumbula abakyala n’abawala kitukakatako ffenna era kyetaaga kukwasiza wamu olwo eggwanga lyonna lisobole okukulaakulana.

Okusiga ensimbi mu byenjigiriza, ebyobulamu n’ebyenfuna byabwe tekiyamba bakyala ssekinnoomu wabula musingi ogw’okukulaakulanya ffamire, ebitundu abakyala gye bawangaalira n’eggwanga lyonna.

Ku lw’ensonga eno, teri mukyala alina kulekebwa mabega.

Nnaabagereka ng'ali mu lukungaana

Nnaabagereka ng'ali mu lukungaana

Yasabye wabeerewo okutumbula ebyobulimi n’amakolero era n’akkaatiriza n’ensonga y’okuwa abakyala ssente ez’amagoba amatono basobole okutandika n’okukulaakulanya bizinensi zaabwe.

Ensonga endala Nnabagereka gye yataddeko essira y’eyokutendeka abakyala bakuguke mu mirimu egyenjawulo n’okwongera obuyiiya mu tekinologiya nga wantondebwawo ebyuma ebyanguyiza abakyala emirimu mu maka gaabwe ne gye bakolera.  

Bino Nnabagereka yabyogeredde mu lukungaana olw’omusanvu olw’abakyala abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu oluyitibwa ‘Women’s Human Rights Defenders conference’ olwayindidde ku Golf Course hotel mu Kampala ku Lwokubiri.

Olukungaana lwategekeddwa ekitongole kya Human Rights Centre Uganda (HRCU) nga kiyambibwako Defend Defenders ne Phenomenal Women Global (PWG) wansi w’omulamwa; Invest in Her: Accelerate Progress ekivvuulwa; Siga ensimbi mu mukyala otumbule enkulaakulana. Abakyala abaasobye mu 150 be baalwetabyeko nga muno mwabaddemu ne bannabyabufuzi, abasawo, balooya, abaasomerako mu Harvard Kennedy School mu Amerika, n’abakiise okuva ku Danish embassy.

Omusomo gw'abakyala

Omusomo gw'abakyala

Nnabageraka yeebazizza mukyala Margaret Sekaggya akulira HRCU ne ttiimu ye olw’okulwanirira eddembe ly’abakyala n’okubakulaakulanya mu ngeri ez’enjawulo.

Ne Sekaggya yasiimye Nnabagereka olw’emirimu ettendo gy’akola ng’ayita mu kitongole kya Nnaabagereka Development Foundation (NDF) omuli okutumbula abakyala, abaana abawala n’abavubuka nga kw’otadde okutegeka Ekisaakaate ekikoze ennyo okugunjula emiti emito.

Olukungaana lwagendereddwaamu okujaguza ebirungi ebituukiddwaako abakyala abalwanirizi b’eddembe n’okutunula mu bibasoomooza eyo gye bawaangaalira.

Mu ngeri y’emu, Liza Sekaggya akulira Phenomenal Woman Global yasabye bonna be kikwatako okumalawo emiziziko egiremesa abakyala okukulaakulana n’okweyagalira mu ddembe lyabwe.

Oluvannyuma Sekaggya yakwasizza Nnabagereka engule emusiima olw’emirimu gyakola mu kulwanirira eddembe ly’abakyala