Poliisi eyodde 150 mu bikwekweto byayo okwetooloola eggwanga
Dec 03, 2024
ABANTU abasukka mu 150, bayooleddwa mu bikwekweto eby'enjawulo, mwe bazuulidde n'enjaga wamu n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kubba.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU abasukka mu 150, bayooleddwa mu bikwekweto eby'enjawulo, mwe bazuulidde n'enjaga wamu n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kubba.
E Kireku, Kakajjo, Mbalwa ne Kirinnya mu Bweyogerere mu munisipaali y'e Nakawa, abawera 38 bakwatiddwa.
Abalala, bayooleddwa okuva e Kawuga, Nantabuulirirwa e Ggoma Mukono , abantu 25, bakwatiddwa so nga yo e Kasolo , Bugambwe e Iganga 23 , bayooleddwa mu kikwekweto.
E Bugiri ku kyalo Nkuusi ward, bayodde 30 ate e Kyanja ne Katumba abawera 40 bakwatiddwa ne babaggalira.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, yategeezezza nti e Namayingo mu bitundu by'e Buyinja ne Kukuyo, bakukunuddeyo 5 ate Katooke ne Wamala e Nabweru 8 bayooleddwa ne Ppikippiki 3.
No Comment