Poliisi erabudde abantu ku butujju n'ababbi mu nnaku za Paasika
Apr 17, 2025
NGA tugenda mu nnaku enkulu, poliisi erabudde abantu okubeera abeegendereza ennyo awaka, mu makubo, ebifo ebisanyukirwamu ne mu masinzizo, okwewala ebikolwa by'ekitujju n'ababbi.

NewVision Reporter
@NewVision
NGA tugenda mu nnaku enkulu, poliisi erabudde abantu okubeera abeegendereza ennyo awaka, mu makubo, ebifo ebisanyukirwamu ne mu masinzizo, okwewala ebikolwa by'ekitujju n'ababbi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti ekiseera nga kino, kikulemberwa okweyongera kw'obumenyi bw'amateeka n'obutabanguko mu maka , by'agambye nti bisobola okwerika.
Mu ngeri y'emu era, akalaatidde baddereeva b'ebidduka okuvuga n'obwegendereza awamu n'okulongoosa obulungi ebidduka byabye nga tebannabisa ku nguudo, okwewala obubenje.
Asabye abasaabaze naddala abagenda mu byalo, okulinnyira emmotoka mu bifo ebituufu, okwewala ababbi.
No Comment