Ssekukkulu e Gayaza ; "Temwemalaako mirembe, muyige okusonyiwagana"
Dec 25, 2024
Ssaabadinkoni w’e Gayaza, Ven. Dunstan Kiwanuka azzeeyo e Kitegomba n’akulemberamu okusinza kw'okukuza amazaalibwa ga Yesu Kristo mu kkanisa y’ekitebe ky’Obusumba buno.

NewVision Reporter
@NewVision
Ssaabadinkoni w’e Gayaza, Ven. Dunstan Kiwanuka azzeeyo e Kitegomba n’akulemberamu okusinza kw'okukuza amazaalibwa ga Yesu Kristo mu kkanisa y’ekitebe ky’Obusumba buno.
Ekkanisa y'e Kitegomba bw'efaanana.
Asabye Abakristaayo okwewala okwemalako emirembe, okwekyawa, bayige okusonyiwagana, babeere basanyufu era nga bamativu, beekwate n’ekitabo kya Katonda kuba kirimu buli kimu.
“Mbasaba muyige okusaba. Mu kusaba mwe muli buli kimu. Ekkanisa ya Uganda etambulira ku mateeka so si buli omu ky’ayagala. Mbasaba mutunuulire nnyo ebintu ebipya ebituli mu maaso.”. Ven. Kiwanuka bwe yategeezezza.
Ssaabadinkoni abadde nomubuulizi Samuel Kibalama yayongedde okukkaatirizza obukulu bw'okusonyiwa Abakristaayo era n’abasaba basigale mu Kristo abazaaliddwa akomyewo essantu n’emirembe mu bakkiriza.
No Comment