Pulaani ya Ham ku mwala gwa Nakivubo Pulezidenti Museveni agikooneddemu

ABAKUGU omuli ne bayinginiya bawabudde ku mwala gw’e Nakivubo ne balaga nti gusobola bulungi okukulaakulanyizibwa ne gukozesebwa ng’ebyenfuna nga bwe kiri mu bibuga by’ensi ez’enjawulo

ulaani nga bwe wagenda okufaanana.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKUGU omuli ne bayinginiya bawabudde ku mwala gw’e Nakivubo ne balaga nti gusobola bulungi okukulaakulanyizibwa ne gukozesebwa ng’ebyenfuna nga bwe kiri mu bibuga by’ensi ez’enjawulo

Bino biddiridde Pulaani nnamutaayika ey’omugagga Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham ng’ayita mu kkampuni ye eya Ham Enterprises (U) Ltd
gye yafulumizza mu nteekateeka ez’okukulaakulanya omwala gw’e Nakivubo oguwerako obuwanvu bwa Kiromita 7 okuva e Wandegeya gye gutandikira okutuuka e Luzira gye guyiwa mu nnyanja Nnalubaale.

Wansi mu mwala bwe wagenda okufaanana.

Wansi mu mwala bwe wagenda okufaanana.


Pulaani ya Ham, Pulezidenti Museveni gye yayise “Godly Plan’, eraga engeri omwala gye gugenda okugayizibwamu n’okuzimbibwa mu ngeri ey’ekikugu nga gusengejja
n’okulongooza amazzi, kazambi ne kasasiro asuulibwamu ’oluvannyuma kuzimbibwe
waggulu amaduuka mu bitundu ebimu ate ebitundu ebirala bissibweko omuddo, emiti abantu mwe basobola okuwummulira.
Omu ku bayinginiya omukugu mu kuzimba ebizimbe eby’amaanyi Ying. Xavier Katende yagambye nti olaba abantu bazimba wansi mu nnyanja naye ate omwala oguli
ku lukalu. Yalaze nti omwala ky’oyagala ky’ogukola singa okakasa nti amazzi gagenda
kusigala nga gatambula.
“Abamu emyala bagisengula abalala bagiyisa wansi w’ebizimbe ng’amazzi gayita wansi
kyokka nga waggulu bakozesaayo kyokka byonn abikola ateekwa kubikola mu nkola
ey’ekikugu” Ying. Katende bwe yagambye.
Ying. Francis Muyunga eyakuguka mu kuzimba mu bifo ebirimu amazzi mangi yagambye nti Uganda nayo eteekwa okubeera ekyobulambuzi ng’abantu bava mu mawanga amalala ne bajja okukoppa bye tukoze nga ddala byanjawulo.
“Tuteekwa okufuula emyala ekifo ekyeyagaza nga tugizimbako amazzi ne gasigala nga gatambula bulungi wansi kyokka nga waggulu bizimbe abantu bakola era ayagala obuyambi ku nsonga ajje mmulage bye tukola” Ying. Muyunga bwe yagambye 

Abakozi ba Ham nga balongoosa omwala.

Abakozi ba Ham nga balongoosa omwala.

Pulaani nga bw’erina okutambula

EBIFAANANYI ebisiige ku ngeri amazzi gye gagenda okutambulamu wansi. Ebifaananyi biraga nti ebitundu ebimu tagenda kuzimbamu bizimbe bigenda kusigala nga  biwummulirwamu kyokka nga tewali asobola kulengera mazzi gye gayita.
Wansi amazzi gye gayita nayo yalaze nti abaguyonja basobola okutambulirayo n’emmotoka ng’eyoola kasasiro ate ne kasasiro nga obuveera tasobola kutuukayo wansi mu mwala amazzi gye gatambulira olw’obutimba obungi obuguteekebwako.
Ng’enteekateeka z’okuzimba
omwala tezinnatandika, Hamyayungudde ebibinja by’abavubuka ne bagwa ekiyiifuyiifu ku mwala okuva gye gutandikira okutuuka gye gukoma nga bwe baguyonja. 

Pulezidenti pulaani agikoonyeemu 

EBBALUWA YA PULEZIDENTI
Pulaani ya Hamis Kiggundu yasanyusizza Pulezidenti Museveni n’awandiikira Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja ebbaluwa nga August 2, 2025 ng’amwogerako nga ow’enjawulo. Ebbaluwa egamba nti Pulezidenti Museveni yafunye okusaba okuva ewa Hamis Kiggundu nga July 25, 2025 ekwata ku mwala gwa Nakivubo n’amuloopera nti omwala si mubikke ekivuddeko abantu okusuulamu kasasiro n’empitambi ssaako obucupa n’ebirala. Nti ebisuulibwamu biguleetera okuzibikira ne kivaako okwanjaala kw’amazzi mu kifo kyonna. Ebbaluwa eraga nti okusaba kwa Kiggundu kwangu nnyo era akkirizibwe okugubikka, okuguyonja n’okugutereeza ku ssente ze.
Yeewuunyizza engeri Ham gye yafunye okubikkulirwa   n’afuna ekirowoozo kino kye yayise ‘Godly Plan’ era n’asemba nti akkirizibwe okuzimbako amaduuka waggulu okusobola okugyayo ssente z’ataddemu. Yakakasizza pulaani ya Ham era n’alagira Katikkiro Nabbanja ayambe Ham okugiteeka mu nkola. 

KCCA KWE YASINZIDDE OKUYISA PULAANI Y’OKUZIMBA KU MWALA
1 KASASIRO: Gubadde kyangaala nga buli asanga ayiwamu kasasiro.
2 AKATTIRO: Gubadde gwafuuka kattiro nga buli enkuba lw’etonnya nga gukuluggusa abantu.
3 ABABBI: Omwala gubadde mpuku y’ababbi n’abatemu abatigomya Bannakampala nga bwe babba oba okukola ebyambyone ebirala bagwesogga ne babuliramu. 4 OBUCAAFU: Ebimu ku bibadde bittattana ekifaananyi kya Kampala gwe mwala ogwo olw’embeera embi gye gubaddemu.

5 EKISAAWE: Ekibiina ekifuga omupiira mu Africa (CAF) kyagamba nti embeera y’omwala kye kimu ku bitasobozesa kisaawe kufuna bbaluwan ekakasa ntin kituukana n’omutindo gw’ebisaawe ebikkirizibwa