Nnina emyaka 24 gyokka, simanyi byakukweka myaka!

Dec 27, 2024

"Njagala nnyo omuntu okuntonera ebimuli naddala ebya ‘natural’ mpozzi n’okuntwalako ku shopping."

NewVision Reporter
@NewVision

Kirabika ky'olowooza kikulu kubanga obwedda nkwetegereza nga ndaba ebirowoozo by'olimu ettaka ttono kwe kusalawo okujja wooli twogeremu osanga ebikutawaanya onoobyerabira.
Ani akugambye nti ndi mu birowoozo, munnange nze sirina buzibu bwonna ‘just’ mpummuza ku birowoozo.

Naye akafo kano okanyumirwa nnyo ntera okukulaba nga ozzeewo kirabika ddiiru gy'ogoberawo nkulu nnyo!
Mbeera ssizze mu bya ddiiru wabula ninawo mikwano gyange kati bwe mbeera awaka nga ‘bimbowa’ nzija ne mpummuliza wano ku birowoozo.

Nga tuvudde mu kwogera kuno na kuli naye olabika okuba nga nakulabako mu nnyimba z’abayimbi abamu oba nnalaba bubi?
Kirabika wandaba kubanga mu mirimu gye nkola mulimu n’okubeera mu vidiyo z’abayimbi.

Ekitegeeza saalaba bubi, wali obaddeko mu nnyimba nga ziriwa?
Nnali mu luyimba lwa Spice Diana Bwereere, Mubiri olwa Brian Avie n’endala.

Bwoba toli mu bya vidiyo okola mulimu ki omulala?.
Nzannya firimu n’emizannyo kwosa  okubeera fashion Designer nga ntunda engoye z’abakyala eziri ku mulembe era mbikolera eno e Mengo gye mbeera.

Kati bwe mbeera mpiseeko mu Mengo mbuuza linnya ki okusobola okukutuukako naddala essimu yo nga teriiko?
Nze Zuena Nankya nga ku Tik tok nkozesa Zoe Epic ate ku WhatsApp 0744297039.

Bawala banno bakweka emyaka gyabwe ggwe wamma eno ssekukulu gye tumazeeko walidde yaakumeka?.
Nnawezezza emyaka 24 nga December 23. Kimanye nti nze sikweka myaka kubanga bangi abatagituukako.

Singa omuntu ayagala okukusanyusa alina kukukolera ki okukuggyamu akaseko?
Njagala nnyo omuntu okuntonera ebimuli naddala ebya ‘natural’ mpozzi n’okuntwalako ku shopping.

Ebiseera byo eby’eddembe obimalako okolaki?
Mbeera mpumuddemu mpozzi n’okwetwalako awutu.

Kiki ekisinga okukuggya mu mbeerang’omuntu akikukoze?

Saagalira ddala bintu bya kumpaayiriza ng’ekintu sikikoze mpozzi n’omwagalwa wange okubaliga awo tuvaawo.

Kusoomoozebwa ki kwe wali ofunye bukya obaawo nga tolikyerabira?

Waliwo omuwala mukwano gwange eyajja okumusuza ng’embeera emutabuseeko kyokka yafundikira asitukidde mu musajja wange bwe nagendanga okukola ne sikomawo nga nnakyala asula n’omusajja era bwe nnakimanya nnawulira nga njagala kumugwa mu bulago naye ne mmulekera Katonda. Wabula omusajja ne mukyayirawo.

Mwali mumaze emyaka emeka n’omusajja oyo?
Ekiseera tekyali kiwanvu nnyo lwakuba ggaayi nnali mwagala nnyo nga mmanyi si muyaaye wabula kyambuukako.

Bagamba ekigwo ekimu tekirobera mwana kutambula kyogamba kati gwe eby’abasajja wabivaako olw’ekyo ekyakutuukako oba wayingizaawo dda omulala?
Naye musajja wattu nga ebibuuzo by’ombuuza bisukkiridde, naye njakubiddamu buuza buli kyoyagala ndi mwetegefu okukyanukula.

Hooo onsumuludde.. naye lwaki buli lwe nkulaba obeera wekka olinga bali abagamba nti tebatambula na mpeekeera z’abasajja kwesuula katale omwami omuleka waka buli omu n’atambula gage?
Ani yakugambye nti nnina omusajja …… ate mu butuufu nkooye obulamu bw’okubeera omu.

Nga wasazeewo okugwa mu mukwano oyinza kugenda na muntu afaanana atya?
Ekisooka ye musajja okubeera ng’alina omulimu, omuwanvu ate nga muddugavu.

Bubaka ki bwowa bawala banno batambule nabwo mu mwaka omupya?
Abawala mbasaba kimu beggyemu ebintu by’okukoppa n’okuvuganya okutanyuma, tebibeera birungi olw’okuba olabye munno asibye akaviiri naawe n’oyagala okukasiba, aguze akagoye naawe n'okola ogwo n'otamanya nti buli omu abeera n’enfuna ye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});