Agambibwa okweyita faaza n'abba omukadde agambye mbu waliwo Abazungu baakolagana nabo
Dec 30, 2024
EBY’OKUYIMBULA musajjamukulu agambibwa okweyita faaza n’afera bannamukadde omusimbi okubatwala okulambula e Roma bikalubye, yategeezezza nti abantu abaalimuyambye okumweyimirira baatya kamera ky’ava avundira mu kkomera.
By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision
EBY’OKUYIMBULA musajjamukulu agambibwa okweyita faaza n’afera bannamukadde omusimbi okubatwala okulambula e Roma bikalubye, yategeezezza nti abantu abaalimuyambye okumweyimirira baatya kamera ky’ava avundira mu kkomera.
Paulius Mugambe 71, akola gwa kubudaabuda bantu omutuuze w'e Busega Kabaale Zzooni mu Lubaga y'avunaanibwa mu kkooti ya Mwanga II e Mengo ogw'okubba abakadde Wiro Mande Kyambadde 97 ne Francisca Kyambadde 84 obukadde 150 ng’abalimbye okubatwala e Roma okulaba Paapa n’ebifo ebitukuvu.
Mu maaso g'akulira abalamuzi ba kkooti eyo ow'okubiri Naume Sikhoya, yategeezezza nti abamweyimirira baabuze olw’okuba batya okulabika mu kkamera era yekka y’amanyi n’omuzungu gwe yawanga ssente zino oluvannyuma lw’abakadde okusaba waakiri asooke abaweeko ku ssente nga tannayimbulwa.
Yategeezezza nti bw’aba tali wabweru bano tebasobola kufuna wadde ekikumi bw’atyo n’abasaba bakkirize ayimbulwe alabe omuzungu gwe yakolagananga naye mu by’okubatwala e bweru olwo aleeteko ku ssente.
Abakadde baakombye kw’ebaza eriibwa nti ekitasoboka kukkiriza ono kuteebwa kuba azze abalimbalimba enkya n’eggulo ne basaba kkooti agira addizibwa e Luzira okutuusa nga yeeterezezza n’okubawaako ku ssente.
Kkooti yatutte ekya banamukadde bano era n’eragira Mugambe addizibwe ku limanda e Luzira okutuusa nga January 13, 2025 lw’anaakomezebwayo okulaba oba alina abamweyimirira olwo omulamuzi asalewo oba ddala asaana okuyimbulwa.
Kigambibwa nti Mugambe yagera nga bannamukadde bano bafunye ssente z’okubaliyirira okuva mu Gavumenti n’atandika okubeetayirira ng’abaperereza okugendako mu bifo by'ekikatoliki nga Roma, Israel, Fatima balambuleko wamu n'okuwummulako ne bazimuwa okukola enteekateeka.
Olw’okuba bakatoliki abajjuvu, baamwesiga okutuusa bwe baalaba nga mpaawo kituukibwako kwe kwekubira enduulu Mugambe n’akwatibwa n’asimbibwa mu kkooti gy’aleppukira kati ku by’obubbi n’obufere
No Comment