AKULIRA Abakyala mu ggwanga, Hajjat Faridah Kibowa asabye abayizi abakuguse mu bya saluuni n'okuddabiriza abantu okukulembeza obuyonjo mu mulimu gwabwe.
Bino yabyogeredde ku mukolo aba Sharitah School of Beauty kwebaatikiridde abayizi 60 mu bintu eby'enjawulo okuli okusiba enviiri, emirimu gya saluuni, okulongoosa omubiri n'ebirala nga gubadde ku Nansana Business Centre e Nansana mu disitulikiti y'e Wakiso nga December 15,2024.
“ Obuyonjo kintu kikulu. Oteekwa okuba omuyonjo kubanga kasitoma bwakuwuliramu akantu kyangu okugenda ate bwatambula n’agenda,tolina kyakumukolera,”Hajjat Kibowa bweyawabudde abaamaliriza emisomo.
Abatikkiddwa nga bajaganya
Hajjat Kibowa era yajjukiza abatikiddwa bano obuteerabira buvunanyizibwa obw'obufumbo kubanga bayinza okukola ensimbi ate nebeerabira okutandika amaka.Omukolo guno gwetabiddwako n’akulira embeera z’abapoliisi mu ggwanga Hadijah Namutebi ng’ono yeebazizza omutandisi w’ettendekero lino Sharitah Namusoke olw’okukwatirako gavumenti ng’ateekawo enkola ey’okubangula Bannayuganda mu bintu eby’enjawulo byeyagambye nti byakubawonya emizze mingi.
Ye Namusoke yategezezza nga bwebawa abavubuka ba Uganda omukisa,gw'okusoma butereevu emirimu gyebagenda okukola era neyeebaza abazadde olw'okubakwatirako okuba nti batuuse ku matikkira ag'omulundi ow'okusatu