Agambibwa okubba eby'okuzannyisa by'abaana asibiddwa

Jan 13, 2025

OMUVUBUKA kawenja agambibwa okumenya sitoowa n’abba eby’okuzannyisa by’abaana asimbiddwa mu kkooti e Mengo n’asomerwa emisango ebiri era n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUVUBUKA kawenja agambibwa okumenya sitoowa n’abba eby’okuzannyisa by’abaana asimbiddwa mu kkooti e Mengo n’asomerwa emisango ebiri era n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.

Alawi Jjuuko 23, amanyiddwa nga Bafana akola gwa kukungaanya bucupa mu kibuga y’agasimbaganye n’omulamuzi Amon Mugezi amusomedde ogw’okumenya ssaako okubba.

Kigambibwa nti Jjuuko, ku ttaano e Nateete nga December 23, 2024, yamenya sitoowa ya Faizo Muyaki n’abbayo ebimotoka by’abaana bye bazannyisa bibiri, paketi z’engaano bbiri, ffulasika, n’essigiri y’amanda nga byonna awamu bibalirirwamu akakadde kamu n’emitwalo asatu.

Mu kkooti, Jjuuko yabyegaanyi n’ategeeza nti yali atamidde n’awummulirako mu kasitoowa ako e Nateete mu Ppaaka kyokka nannyini ko bwe yamusangamu n’amusibako ogw’okubba eby’alimu.

Omulamuzi yategeezezza nti abavubuka abanoonya obucupa basusse okutwala ebintu by’abandi ate nga be bamu ku basinga okuleetebwa mu kkooti ku misango gy’okubba.

Yabuliddwa abamweyimirira n’amusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga January 20, 2025 lw’anadda gutandike okuwulirwa oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okutegeeza nti okunoonyereza kwawedde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});