AKULIRA oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi yemulugunyiza ku kakiiko ak’omuntu omu palamenti keyataddewo mukutegeka amaziika g’eyabadde omubaka wa Kawempe North- Muhammad Ssegirinya ekyaviriddeko n’baluganda okweyawulamu.
Mu kuziika Sseggirinya, Palamenti yalonze kamisoona Mathias Mpuuga akulemberemu omukolo ogw’okuwerekera omugenzi era n’enteekateeka ne zikolebwa ku kisaawe e Butale, Kadduggala mu Disitulikiti ye Masaka wabula aba famire abamu nebasigala maka ate abalala ku kisaawe kwosa abakungubazi.
Bino abyogedde bwabadde ayannukula ebibuuzo bya bannamawulire mulukungaana lwayise okwogera kwebyo byatuseeko mu mwaka ogumu gwamaze mu ofiisi n'agambye kino kyatyobodde nnyo ekitiibwa kya Ssegirinya.
Ssenyonyi agambye nti omwaka gwamaze tegumuberedde mwangu wabula naye si ye muntu omwangu kubanga buli kimu akyenganze.
Ssenyonyi era yewuunyiza abantu abagamba nti ababaka bakibogwe nti era tebakoze kimala kunsonga eziruma bannansi nti bagya kulya bulwyi n’agamba nti ekireese abantu okulowooza bati, bebannabwe abakiriza okutambulira ku ntoli z’abalala.
Agambye yadde bafubye omunafuya nga bwalemereddwa n’okutuuza awamu ababaka ku bibiina ebivuganya kwosa n’abamu okugamba nti yali tasanidde kuweebwa kifo kino nagamba nti Katonda yeyasalawo kibe kuba abalaze nti asobola.
Ssenyonyi aweze nti tagenda kutta ku bigere ng’ayingira omwaka ogw’okubiri mu buweereza era naakutira Ababaka abatali beesimbu okweddako ku by’okuswaaza ab’alonzi n’agamba nti yadde azze ayogera byakola, kibadde kimukakatako okuddamu okubitegeezza eggwanga