Bbanka gwe yasindikira obuwumbi 22 mu nsobi kkooti emusibye yaakakozesaako obukadde 800
Jan 15, 2025
NANNYINI bifo we baasimba emmotoka mu Kampala ekya Smart Technology Parking asingisiddwa omusango gw’okukozesa ssente obukadde 848 ku buwumbi 22 ezaasindikibwa bbanka ya Absa mu butanwa ku akaawunti ye.

NewVision Reporter
@NewVision
NANNYINI bifo we baasimba emmotoka mu Kampala ekya Smart Technology Parking asingisiddwa omusango gw’okukozesa ssente obukadde 848 ku buwumbi 22 ezaasindikibwa bbanka ya Absa mu butanwa ku akaawunti ye.
Jimmy Ronald Ajuk omutuuze w’e Mbalwa-Kyaliwajjala y’asingiddwa omusango gw’okufiiriza bbanka ya Absa ssente obukadde 848 (ddoola 219,931) bwe baamusindikira obuwumbi 22 mu nsobi (ddoola obukadde 6 ) mwezi gwa June, 2022 era n’atandika okuzikozesa nga teyeebuuzizza.
Omusango guno Ajuk abadde abbinkana nagwo mu kkooti y’omulamuzi Lawrence Gidudu owa kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abali b’enguzi e Nakasero era ono yamusingisizza omusango gw’okufiiriza bbanka obukadde 848 ze yali amaze okukozesaako nga ye agamba nti ssente zino zaali zimuweerezeddwa okuva mu ggwanga lya Germany.
Omulamuzi Gidudu yeesigambye ku bujulizi obwaleteebwa oludda oluwaabi olwakulembeddwa Gloria Nzikuru.
Mu bumu ku bujulizi obwaleetebwa mu kkooti bulaga nti Ajuk yalinamu ku buzibu bwa ssente n’asaba mukwano gwe Ann Kamwine okumuwola obukadde 6 era naye kye yakola n’azimuwa nga yeeyambisa Bbanka ya Absa wabula mu nsobi ate Bbanka n’esindikira Ajuk obukadde bwa ddoola 6 nga bwe buwumbi 22.
Ssente zino olwatuuka ku akawunti ya Ajuk yatandikirawo okuzikozesa omuli okuzisindikira abantu nga yeyambisa omukutu gwa yintaneenti n’okuzijja ku akawunti ye nga yeeyambisa ATM, era mu nnaku 3 nga 10,11 ne 13 ,June ,2022 yali amaze okuggyako ssente obukadde 848.
Omulamuzi amusindise ku limanda mu kkomera e Luzira era alinda kuweebwa kibonerezo.
No Comment