Ow'emyaka 38, asaba abazirakisa bamuyambe asobole okulongoosebwa ekizimba ku bwongo
Jan 18, 2024
OMUWALA ow'emyaka 38, alajaanidde abazirakisa bamuyambe asobole okulongoosebwa ekizimba ku bwongo ekirudde nga kimutawaanya.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Godfrey Kigobero
OMUWALA ow'emyaka 38, alajaanidde abazirakisa bamuyambe asobole okulongoosebwa ekizimba ku bwongo ekirudde nga kimutawaanya.
Olivia Mukisa nga mutuuze w'e Kabowa mu Kampala, ye yeetaaga obukadde bw'ensimbi obusoba mu 25, zimuyambe okulongoosebwa ekizimba, ekimulemesezza okubaako omulimu gwe yekolera.
Mukisa ategeezezza nti amaze ekiseera ng'atawaanyizibwa omutwe , kamunguluze n'okusannyalala, okutuusa lwe yagenze mu ddwaaliro e Kibuli ne bamukebera ng'alina ekizimba ku mutwe era nga yeetaaga kulongoosebwa mu bwangu.
Annyonnyodde nti eddagala ly'akozesa mu kiseera kino okukakkanya ku bulumi, lya bbeeyi nnyo ate nga ssente zimuweddeko era takyakola, kwe kulaajanira abazirakisa okumuyambako ku ssente .
Ayongeddeko nti omuzirakisa asobola okumuweereza ku ssimu nnamba 0709746761 oba ku account nnamba 6001101690 mu ABSA bank.
No Comment