Emmaali y'omugenzi Mukiibi eyali owa Uganda funeral servise etabudde aba famire.

Jan 13, 2025

Emmaali y'omugenzi Mukiibi eyali owa Uganda funeral servise etabudde aba famire.

NewVision Reporter
@NewVision

WAABALUSEEWO obutakkaanya wakati wa ffamire y’omugenzi,Regina Mukiibi ng’ono ye yali nannyini kkampuni ekola ku by’okuziika eya Uganda Funeral Servises ng’entabwe eva ku byabugagga omugenzi byeyaleka.

Embeera eno ereetedde abaana okweyogerera ebisongovu nga bagamba nti okuva nnyabwe bweyafa ebintu bingi byeyaleka ebitundiddwa ewatali yadde kutegeragana mu bbo ng’abaana..

Niclos Bisase,ng’ono ye mwana omukulu ategeezezza nti nnyabwe bweyafa baasalawo okwegatta ng’abaana basobole okutwala emirimu gya kkampuni eno ng’abaana ewatali kwekutulamu nti wabula ekyamuggya enviiri ku mutwe beebamu ku baganda be okutandika okutunda ettaka omugenzi lyeyaleka e Kitemu mu Kyengera Town Council nti nga kati obwelalikirivy bwe webuli kwekuba nti baganda be bano bebamu baalabiddwaako nga balambuza abantu abalala ettaka okuli ekijja webaziika nnyabwe n’ekigendererwa eky’okutunda.

Bisase ayongeddeko nti ye ng’omuntu emirimu gye egisinga agikolera mitala wa mayanja nti nga kale baganda be abamu baakozesa omukisa guno nga taliwo ne batundu emmaali y’omugenzi nti nga kati n’emirimu mu kkampuni yaabwe eno ekola ku kuziika gyaasasaanyalala dda olw’enkayana ezili mu ffamire.

Bonefansi Lukwago,munnamateeka wa kkampuni ategeezezza nti ensonga za ffamire eno ziludde nga zimugulumbya omutwe kyokka neyekokkola bannakigwanyizi ababuuzabuuza abamu ku baana okutunda ebintu by’omugenzi okukikomya kuba bakikola mu bukyamu.

BEBALUMIRIZA OKUTUNDA BOOGEDDE.

Peter Nsubuga,omu ku baana gwebalumiriza ategeezezza nti ekisinga okubaluma nti okuva nnyabwe lweyafa ye ne banne abamu bazzenga banyigirizibwa naddala mu kudukanya emirimu gya kkampuni yaabwe nti nga n’ekisinga okwewuunyisa nti waliwo n’omu ba ffamire amannyiddwa nga Henry Migadde eyatandika kkampini endala ey’okuziika ng’ayita mu bbo benyini ky’agambye nti kyagootaanya nnyo emirimu mu kkampuni yaabwe.

Kyokka ye Migaddev ebimwogerwaako abyegaanye era ng’asabye abakulembeze okuyingira mu nsonga zaabwe ng’ekizimba tekinasamba ddagala.

LUKYAMUZI ABIYINGIDDEMU.

Embeera eno ewalirizza akulira akakiiko akakola ku nsonga z’ettaka mu ofiisi ya Pulezidenti,Brig Moses Lukyamuzi okuyingira mu nsonga z’affamire eno era nga yasabye abaana bano okutuula awamu bagonjoole ebyasoba.

Lukyamuzi era asinzidde mu lukiiko luno n’alabula abantu abalowooza nti bagenda kumala gabba ettaka ly’abantu mu lukujjukujju okukikomya nti kuba tagenda kubaganya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});