Pulezidenti Museveni agguddewo Ekkanisa eyazimbiddwa Sam Kutesa

Apr 28, 2025

PULEZIDENTI Museveni agguddewo ekkanisa ya All Saints e Ssembabule eyazimbiddwa eyaliko minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Sam Kutesa.

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni agguddewo ekkanisa ya All Saints e Ssembabule eyazimbiddwa eyaliko minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Sam Kutesa.

Museveni yeebazizza Kutesa n’agamba nti, kirungi abantu okukola ebintu by’ekijjukizo nga bamanyi ekiseera kyonna ensi bagivaako. Yagasseeko nti, kimuwa essanyu okulaba ng’abantu kati bategeera Katonda n’enkulaakulana n’agamba nti, tekimala omuntu okusaba kyokka nga takola.

Kkanisa Eyagguddwako Bw'efaanana.

Kkanisa Eyagguddwako Bw'efaanana.

Pulezidenti yawaddeyo obukadde 100 ziyambeko okumaliriza ennyumba y’Omulabirizi wa West Buganda ne Ssaabadinkoni wa Ssembabule, Canon Enock Muwanguzi n’amuwa obukadde 50 zimuyambeko mu buweereza.

Ekkanisa eno esangibwa mu Market zone mu Ssembabule Town Council yamazeewo akawumbi kalamba okugizimba.

Kuteesa yagambye nti, yazimbye kkanisa eno nga yeesigama ku nsonga bbiri okuli; ey’okujjukira bazadde be abaatandika omusingi gw’eddiini e Ssembabule. Kw’agatta n’endagaano gye yakola ne Katonda olw’okumuwonya kookolo w’omumiro mu November wa 2022.

Okusaba kwakulembeddwaamu Omulabirizi wa West Buganda, Gaster Nsereko eyeebazizza Pulezidenti olw’okukuuma emirembe mu ggwanga n’okubawa ttulakita ezirima. Yasiimye Kuteesa olw’okuzimba Ekkanisa eweesa Katonda ekitiibwa.

Shartis Kutesa (omubaka wa Mawogola North) yeebazizza kkampuni ya sseminti eya Tororo abaayambako kitaawe n’abantu b’e Ssembabule mu kubazimbira ekkanisa.

 

Rt. Rev. Samuel George Bogere Egesa, okuva mu Bulabirizi bw’e Bukedi nga ye yakiikiridde Ssaabalabirizi wa Uganda Dr. Samuel Kaziimba Mugalu, yasabye abakulembeze b’eddiini okukubiriza abantu okukola so si kusabiriza era n’akuutira Abakristaayo okubeera abeetoowaze mu bye bakola ssaako okwewala okuyomba kibayambe okukuuma ekkanisa ey’awamu.

Omukungu Tororo cement, Hasim Patel yategeezezza nga bwe yasabwa Sam Kutesa amukwasizeeko okuzimba ekkanisa eno. Wadde nga bo mu kusooka, baali baagala bamuyambeko ku bujjanjabi bwe yaliko ebweru w’eggwanga.

Wabula Kuteesa yasalawo bamuyambeko mu kuzimba Ekkanisa eno n’essomero limu mu kitundu.

Omukolo gwetabyeko abakulembeze ab’enjawulo okuli; Mary Begumisa (omubaka omukazi/Ssembabule), minisita Anifa Kawooya, Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga), Robinah Rwakoojo (Gomba West) ne minisita w’abavubuka n’abaana, Balaam Barugahara.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});