Supreme Mufti Galabuzi atenderezza ebyakolebwa Zubair Kayongo

Apr 28, 2025

ABANTU ab’enjawulo beeyiye mu maka g’omugenzi Sheikh Zubair Kayongo eyali Supreme Mufti wa Uganda okumusabira mu Dduwa ya buli mwaka, Pulezidenti n’awaayo obukadde 300 okuddaabiriza amasomero ge.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU ab’enjawulo beeyiye mu maka g’omugenzi Sheikh Zubair Kayongo eyali Supreme Mufti wa Uganda okumusabira mu Dduwa ya buli mwaka, Pulezidenti n’awaayo obukadde 300 okuddaabiriza amasomero ge.

Dduwa eno yabadde mu maka g’omugenzi ag’omu kyalo gye yaziikibwa mu Town Council y’e Lwamata Buswa Bulongo mu disitulikiti y’e Kyankwanzi.

 

Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Galabuzi eyabadde omugenyi omukulu, yatenderezza omukululo omunene n’ebyafaayo ebitayinza kwerabirwa naddala mu Busiraamu omugenzi bye yaleka n’asaba Allah amugaziyirize ejjana.

Yasabidde n’eggwanga okubeera n’emirembe n’akoowoola Bannayuganda okuba obumu ate n’okulabira ku bantu abanene ng’omugenzi Sheikh Kayongo bye baakola.

Ambasada Habib Kagimu eyayogedde ku lwa ffamire yeebazizza Katonda olwa byonna bye yasobozesa omugenzi Kayongo okukola n’asaba bamulekwa okusigala obumu baleme okwekutulamu batwale omukululo gw’omugenzi mu maaso.

Pulezidenti Museveni yawaddeyo ssente obukadde 300 okuyambako amasomero g’omugenzi Kayongo okuli Buswabulongo Islamic P/S ne Buswabulongo Islamic SS okugaddaabiriza nga zeetikkiddwa muwala wa Gen. Salim Saleh, Desire Muhooza ne yeeyama okuwa amasomero gano kompyuta n’okulongoosa omuzikiti.

Abamu ku beetabye ku mukolo guno kwabaddeko omubaka Abdul Mutumba Ssettuba owa Kiboga East, omubaka Dr. Kefa owa Kiboga North, omubaka omukyala owa Kiboga Christine Nakimwero n’abalala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});