Lubaga etandise ebikujjuko by'okujaguza emyaka 100
Jan 22, 2025
Klezia Lutikko ey’e Lubaga omwaka guno ejaguza emyaka 100 bukya eggulwawo. Y’atukuzibwa nga Desemba 31, 1925. Ng’emu kungeri ey’okwetegekera ekijaguzo, wateereddwawo pulojekiti ez’enjawulo ezigenda okugatta kunkulaakulana y’ekigo. Emu kuzo y’ey’okuzimba ennyumba y’Abasaserdooti.
By Mathias Mazinga
Journalist @New Vision
Klezia Lutikko ey’e Lubaga omwaka guno ejaguza emyaka 100 bukya eggulwawo. Y’atukuzibwa nga Desemba 31, 1925. Ng’emu kungeri ey’okwetegekera ekijaguzo, wateereddwawo pulojekiti ez’enjawulo ezigenda okugatta kunkulaakulana y’ekigo. Emu kuzo y’ey’okuzimba ennyumba y’Abasaserdooti.
Muntereeza eno, abafumbo abaagattirwa mu Lutikko eno ngabayita mu kibiina ekibagatta ekiyitibwa ‘Tuesday Class’ basazeewo okuwagira omulimo gw’okuzimba ennyumba eno, ogugenda mu maaso mukisera kino.
Fr Achilles Mayanja ye Bwanamukulu wa Lutikko.
“Abafumbo baffe batuzzizzaamu amaanyi. Batonye eby’okuzimba, okugeza enzigi n’amadirisa. Kyokka ate ye Gratia William Lwanga ne mukyalawe Maria Regina Lwanga abaakajaguza emyaka 25 mubufumbo baakoze eky’enjawulo. Baasazeewo Klezia bagiwe ettaka,” Fr Mayanja bweyategeezezza.
Ssabasumba Paulo Ssemogerere ey’akulembeddemu mmisa ey’okwebaza, mu Lutikko e Lubaga, y’asiimye Gratia William ne mukyalawe Maria Regina.
Abagole n'emperekeze
“Bannaffe Balwanga tubasiima nnyo. Ensangi zino sikyangu kusanga muntu atona ttaka. Bwennali nkyali Mwepiskoopi w’e Kasana-Luweero, Omukristu omu y’atutonera ettaka lya yiika 50 kyokka n’afa ngatannalitukyusiza. Abamu kubaana guno baagulaba ng’omukisa gw’okulyesigariza. Twawadaawadako. Kunkomerero baatuwaako yiika 15 zokka, kw’ezo 50 ezaali zituweereddwa.”
Gratia William Lwanga annyonnyodde.
“Omukama atubundugguddeko emikisa mingi mubufumbo bwaffe. Atuwadde obulamu, abaana, emikwano, ssente ez’okweyambisa. Nnali,musomesa mumasomero ga Klezia. Naweerezaako g’omukwanaganya wa pulojekiti mu Caritas Kasanaensis. Naweerezaako nga Dayiekita wa Caritas Kampala, era nnali Ssabakristu w’ekigo ky’e Nabbingo. Mbadde ntekeddwa okubaako eky’enjawulo ky’enkola okulaga Katonda okusiima kwange,” Lwanga bweyategeezezza.
PAAPA ABASIIMYE
Omutukuvu Paapa Francis y’asiimye Maria Regina ne Gratia William Lwanga olw’okutambuza obulungi obufumbo bwabwe. Ng’akabonero ak’okubasiima, y’abaweerezza Omukisa gwe ogw’Obutume. Gw’abakwasiddwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere mu Klezia Lutikko e Lubaga.
No Comment