Balaze obutali bumativu ku musolo gw’endagaano
Jan 26, 2025
ABANTU ab’enjawulo balaze obutali bumativu ku kiragiro ekyayisiddwa ekitongolekya URA ku ndagaano zonna ezikolebwa nti ziteekeddwa okusasula omusolo gwa 15,000/-.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
ABANTU ab’enjawulo balaze obutali bumativu ku kiragiro ekyayisiddwa ekitongole
kya URA ku ndagaano zonna ezikolebwa nti ziteekeddwa okusasula omusolo gwa 15,000/-.
Bw’okola endagaano nga tosasudde musolo, musango era bwe gukusinga, otanga engassi etasukka obukadde 2 oba okusibwa emyezi egitasukka 6 oba ebibonerezo
byombi okusinziira ku nnyingo 56 (1) (b) eya Stamp Duty Act.
Endagaano ezirina okusasula omusolo kuliko; ey’okutunda (sales agreement), ey’okugula (purchase agreement), ez’obupangisa (rental agreement), endagaano y’okwewola (loan agreement), ey’obukozi (employment contact) n’endala.
Munnamateeka Bruce Musinguzi, owa Kampala Associated Advocates agamba omusolo gulina okuba nga guleetawo obwenkanya.
Okulagira omuntu ayingiza obukadde 100 n’afuna akakadde akamu bonna okusasula 15,000/- tekiraga bwenkanya.
Endagaano endala ezizze zikolebwa agamba nazo ziwa emisolo egy’enjawulo nga
withholding tax oba VAT era ekyakoleddwa kubinika. Abantu be bazze bakubiriza okukola kontulakiti, enkola eyaleeteddwa alaba nga ebalemesa kuba bangi basangiddwa bawa emisolo nga ogwa Pay As You Earn (PAYE).
Ssentebe wa KACITA, Thadius Musoke agamba nti kyamususseeko kuba alaba nga URA eyitiridde okusimba oluseke mu Bannayuganda. Ebibonerezo
byennyini agamba byasusse obunene kuba omuntu asasula obukadde obubiri nga n’ekintu kiyinza okuba kyali tekiwez mitwalo 20, kyewuunyisa.
Endagaano ewa omuntu omulimu yeewuunya engeri gy’eggyibwako omusolo ng’ate
omuntu bamuwonyezza okutaayaaya n’afuna omulimu era nga ku musaala gwe era Gavumenti ejja kuguggyako omusolo.
Musoke yasembye omusolo gussibwe ku bintu byokka ebikola amagoba. Yalaze obuzibu
obuyinza okuvaamu abantu balekera awo okukola endagaano olw’okutya okusasula omusolo, ekijja okwongera enkaayana.
Frank Mawejje, akulira abavuzi ba bodaboda mu ggwanga yagambye nti enkola yaabwe
ey’endagaano kwe bagulira piki era sibaakugivaako. Yagambye nti baakukaluubirizibwa nnyo okussa ekiragiro kino mu nkola kuba nabo bennyini abakulembeze abalina okulung’amya abalala tebalina kye bakimanyiiko.
Aloysius Mukasa (Lubaga South) yagambye nti endagaano ezimu ezikolebwa teziweza
wadde 20,000/-. Bagamba batya eyagikoze ate okusasula omusolo gwa 15,000/-! Waliwo n’embeera y’omuntu okugabira munne ekintu nga ne gwe bawadde talina wadde 10,000/-. Mu mbeera eno toyinza kugamba gwe bawadde mbuzi asasula omusolo.
“Teebereza afunidde ekintu ku bwereere n’akigabye tafunyeemu, Gavumenti n’eyagala efunemu,” Mukasa bwe yagambye.
Fred Lumbuye bbulooka w’ettaka e Nateete yagambye nti ku bantu abaagala ebyapa, omusolo guno babadde bagusasula.
Yagambye nti ab’endagaano tewali ngeri gye bajja kubakaka kugusasula kuba ebyabwe bikoma ku LC n’abamu tebagendayo kasita wabaawo abajulizi.
Enkola y’okuba ng’etteeka lirina kukola oluvannyuma lw’abantu okufuna obutakkaanya
agivumirira nti teraga bwenkanya mu tteeka. Yasabye Palamenti okuyingira mu nsonga
eno, bayise ekiragiro ekiyimiriza omusolo guno.
Engeri ekiragiro gye kigendaokukwasibwa, omwogezi wa URA, Robert Kalumba yagambye nti etteeka bajja kulikwasisa nga beetegereza engeri omukozi gy’asasulamu omusolo gwa Pay As You Earn (PAYE) ku kontulakiti ye. Baakulondoola oba buli mukozi asasulwa, yasasula omusolo guno.
Bwe kinaatuuka ku kugusolooza, ku ndagaano z’obupangisa, baakutegeerera
ku musolo gw’amayumba. Kalumba ayongerako nti bajja kukolagana
n’ebitongole bya Gavumenti ebirala nga minisitule y’ebyettaka bakakase nga buli
muntu asasula omusolo guno.
Omusolo ku ndagaano gulina kusasulibwa oyo akola endagaano. Okugeza
ku ndagaano y’obuguzi gulina kusasulibwa agula, ate ku mulimu, omukozesa y’alina okugusasula
No Comment