Ebika bya tenti ebikola ssente
Feb 08, 2025
MU 2025 Peace Abasa yalina wooteeri mu kitundu kya Ntungamo wabula yayingira bizinensi ya tenti mu ngeri y’okunoonya ekkubo ly’okwongera ku nnyingiza era leero alina kkampuni erina tenti ezikozesebwa ku mukolo egy’enjawulo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
MU 2025 Peace Abasa yalina wooteeri mu kitundu kya Ntungamo wabula yayingira bizinensi ya tenti mu ngeri y’okunoonya ekkubo ly’okwongera ku nnyingiza era leero alina kkampuni erina tenti ezikozesebwa ku mukolo egy’enjawulo.
Yatandika ne tenti za bulijjo 10 nga ku zino 4 zaali zituuza abantu 100 nga buli emu yagigula ku bukadde busatu ate endala mukaaga nga zituuza abantu 50 ze yagula ku kakadde kamu n’ekitundu buli emu kw’ossa obutebe 500 nga buli kamu yakagula ku 28,000/-.
Zino zaakola ssente mw’agenze ayongera okugula tenti z’omulembe era n’akola ne kkampuni. Lauben Kereere maneja atwala eby’emirimu mu kkampuni eno agamba nti leero basobola okukwataganya emirimu 10 omulundi gumu.
EKYABAWALIRIZA OKUGAZIYA BIZINENSI
Kereere agamba nti nga baakatandika bakasitoma beemulugunyanga ku tenti okutwalibwa empewo ne zibagwako naddala mu kiseera ky’enkuba kyokka nga tebalina kyakukola ekyabafiirizanga bizinensi ne balaba nga tebakola magoba.
“Tenti za bulijjo ezikolerwa wano zibeera ne payipu ennafu ate nga tezirina ngeri gy’osobola kuzisibira mu ttaka kunywera. Wano twasalawo okutandika okugula tenti ennongoseemu ze twagulanga okuva e China mu 2019 nga twatandika ne tenti bbiri,” bw’agamba.
Mu myezi nga mukaaga nga baleese tenti zino zaali zimaze okukola ssente ezireeta endala olwo kkampuni n’etandikira ddala okugejja.
Oluvannyuma bakasitoma baatandika okusaba ebintu ng’emmeeza, kaabuyonjo ezitambuzibwa n’obutebe obw’omulembe nabyo ne babigula era kati basobola okutegeka buli kika kya mukolo mu ngeri kasitoma gy’agwagalamu.
EBIKA BYA TENTI EBIKOLA SSENTE
Kereere agamba nti okubeera n’ebika bya tenti eby’enjawulo kiyamba kinene obutakuggyaako bizinensi.
Kasitoma asobola okweroboza okusinziira ku ky’ayagala, obusobozi n’ekika ky’omukolo gw’agenda okukola okukuwa bizinensi. Mu bika bya tenti mulimu;
1. Ezaabulijjo: Zino zikolerwa wano wabula obuzibu bwe zirina mpewufu nga zifumuulwa empewo era ze zisinga okugwa mu kiseera ky’enkuba. Wabula za bbeeyi ya wansi mu kupangisa okusobozesa buli kasitoma okufuna w’agwa.
2. Pagora: Agamba nti zino bazirina mu bugazi obw’enjawulo okuli etuuza abantu 50 nga temuli mmeeza ate bwe mussibwamu emmeeza etuuza abantu 40. Endala etuuza abantu 100 nga temuli mmeeza kyokka bwemussibwamu emmeeza etuuza 50 - 80.
Zino zikolebwa mu byuma ebigumu ddala nga bizito era zirina ebyuma ebizikwatira mu ttaka ate nga zibeera n’obubikka enjuyi zonna ennya ng’enkuba ne bw’etonnya ebikkibwa nga nnyumba.
3. Multiflex: Zino zijjira mu nkola mukaaga okusinziira ku bugazi n’obuwanvu. Zibeera n’obugazi obutakyuka kyokka obuwanvu busobola okukyusibwa okusinziira ku bungi bw’abantu abagenda okutuuzibwa ku mukolo.
Muno mulimu ezibeera n’akasolya ak’ettundubaali eryeru (White top) ate n’ezibeera n’akasolya akatang’aala (Skyline). “Ez’akasolya akatangaala zikekkereza ebisale by’okutimba kuba obulungi bw’ekifo bw’ongerwako endabika y’ebire wabula tezikola mu kaseera ka musana omungi kuba zikuuma ebbugumu munda.
4. Parasol: Zino zibeera nga manvuuli era zikozesebwa nnyo mu kaseera nga kakakkamu gamba abagenda okutegeka omukolo olweggulo mu kafo nga kakkakkamu ate nga temuli nkuba. Zino zikendeeza nnyo ssente z’okutimba.
ENKWATAGANYA YA BIZINENSI
Joseph Arinaitwe Mibazi dayirekita w’emirimu mu kkampuni eno agamba nti mu mulimu gwa tenti nga zino ennene olina okutuuka mu kifo awagenda okukolerwa omukolo kuba emirundi mingi kasitoma asobola okulowooza nti wagazi ekimala n’osisinkana nga wafunda okutuuzaawo tenti gy’ayagala nga mulina okukyusa.
Kikulu okutambula ne kasitoma kuba kitaasa obudde. Tenti ennene zitwala obudde okusimba Ennene ddala zitwala ennaku nga ssatu ng’ebyuma bisitulwa kamotoka (kuleyini).
Olina okuba n’abakozi abawera era nga balina obumanyirivu okuzimba tenti ezo. Bano batambulira ku mmotoka ezitambuza tenti okuzisimba kuba ezimu zeetaagisa obukugu era olina okuba n’emmotoka ezizitambuza nga kasitoma asasula mafuta okusinziira ku mukolo gye guli.
OKUSOMOOZEBWA
Mibazi agamba nti balina okusoomoozebwa kw’embeera y’obudde kuba bakasitoma ababeera batutte tenti za bulijjo zimanyi okugwa olw’embuyaga ekitaataaganya emikolo gya bakasitoma.
Mu ngeri y’emu balina okusomoozebwa kw’amakubo naddala ku bakasitoma abali mu byalo ate oluusi waliwo n’abatalina na makubo gatuuka waabwe ekikaluubiriza abakozi nga balina okusitula ebyuma eng’endo empanvu ate nga bizitowa.
No Comment