Mu liigi ya yunivasite
Mutesa I Royal 1– 0 MUBS
Leero
SLAU – YMCA, Kavule-Mpigi
MUTEESA I Royal University eraze nti si mmere kulya mu Pepsi University Football League gye yeetabyemu omulundi ogusooka.
Yawangudde MUBS (1-0) mu e Masaka n’erinnya ku ntikko y’ekibinja F ku bubonero 6. MUBS erina 4 ate Mbarara University of Science & Technology (1).
Musa Sserwanga ye yannyogozza MUBS bwe yateebye mu ddakiika y’e 89 ng’abagenyi batandise okwenyumiririza mu maliri. Ogwasooka e Nakawa, MUBS yawangula ne ggoolo 1-0.
Empaka ziddamu leero e Kavule mu Mpigi nga St. Lawrence University (SLAU) ekyaza Young Men’s Christian Association (YMCA) Comprehensive Institute, eyabakubira e Buwambo (2-0).