Balaze bwe banaasunsula aba S.5
Feb 14, 2025
KU Lwokuna ne ku Lwokutaano lwa wiiki ejja, abakulira amasomero ga Gavumenti lwe banaatuula n'aba minisitule y'Ebyenjigiriza okusunsula abayizi abagenda kuS.5.

NewVision Reporter
@NewVision
KU Lwokuna ne ku Lwokutaano lwa wiiki ejja, abakulira amasomero ga Gavumenti lwe banaatuula n'aba minisitule y'Ebyenjigiriza okusunsula abayizi abagenda ku
S.5.
Wabula abazadde n'abantu abalala bali mu bbanga nga beebuuza engeri abayizi abamaze S4 ku nsoma empya bwe bagenda okusunsulwa okufuna ebifo n’amasomo ge banaatwala.
Okusunsula aba S.5 kwakubeera Lugogo nga kwakulung'amizibwa minisitule 'Ebyenjigiriza ne National Curriculum Development Centre (NCDC), olwo olusoma lwa
S.5 lutandike nga March 3.
Omwogezi wa minisitule y’Ebyenjigiriza, Dr. Dennis Mugimba yategeezezza Bukedde nti oluvannyuma lw’okukkaanya ku nsonga ez'enjawulo ezigenda okugobererwa, bagenda kulung’amya amasomero ku ky’okukola.
Badru Sseggwaya, omusomesa wa Chemistry ku Kibuli SS era mugolozi wa UNEB yagambye nti okufuna A kitegeeza nti omuyizi afunye D1 ne D2. Omutendera gwa B gwenkana ne 'credit' 3 ne 4. C yenkana 'credit' 5 ne 6 ate D ne yenkana 'Pass' 7 ne 8. Omuyizi bw'afuna E, mu kitegeeza nti yagudde (afaanana eyafunye F9 mu nsomesa enkadde).
Akulira UNEB, Dan Odongo yagambye nti tewakyali nkola ya kugabira bayizi F kuba ensomesa empya eraga byonna omuyizi by'abadde ayiga okuva mu S.1.
Eno y’ensonga lwaki kizibu okugeraageranya enkola empya ku nkadde. Odongo yagambye nti omuyizi okufuna 'A' kitegeeza omuyizi asukkulumye mu kintu ekyo era asobola bulungi okubissa mu nkola mu bulamu bwa bulijjo.
Omuyizi bw'afuna E kitegeeza teyafunye bubonero butandikirwako okulaga nti yategeera ebyamusomesebwa. Christopher Muganga Kagolo, avunaanyizibwa ku kuteekateeka ebisomesebwa mu masomero ga siniya mu National Curriculum Development Centre yagambye nti abayizi bonna bajja kuweebwa ‘transcript’, kyokka satifikeeti zijja kuweebwa abo bokka abaalaze obusobozi obubongerayo.
satifikeeti y’ebbaluwa eweebwa omuntu amalirizza omutendera okugeza ogwa 'O' Level ng’eraga bwe wayitamu. Ate 'Transcript' ye bbaluwa erambulula byonna omuyizi bye yasoma mu myaka gye yamala mu mutendera ogwo.
Ebeerako byonna bye yasoma okuva mu S.1 ng’eraga obubonero bwe yafuna awamu n’ebintu by'alinamu obusobozi. Omuyizi ne bw'aba teyafunye bubonero bumwongerayo, ku S.5, akozesa ebbaluwa eno okubaako omulimu gw’omu mutwe gw'asoma. Buli muyizi eyatudde S.4 waakuweebwa ‘transcript’, kyokka yo satifikeeti ya UCE ejja kuweebwa bokka abaayitidde mu muteeko gwa Result 1. Omuyizi e bw'aba teyeeyongeddeyo, eno gy'akozesa okulaga by'asobola. Abayizi abanaafuna ‘transcript’
, ga ziriko Result 2 ne Result 3 tebajja kukkirizibwa kweyongerayo mu S.5. Kyokka basobola okweyambisa ‘transcript’ ne balaba we balina amaanyi ne beeyongerayo n’omulimu ogwo okugeza okukanika oba okutunga.
Abayizi bagenda kusigala nga batwala amasomo ge gamu 3 nga bwe kibadde mu nkola enkadde, kyokka ekyenjawulo baakutwala mu maaso polojekiti ze bakola ku masomero era obubonero buno bujja kubalibwa nga batuuse okutuula ebya S.6
ALAZE EBYANDIKOLEDDWA UNEB KU NSENGEKA Y’OBUBONERO EMPYA
Ssentebe wa bannannyini masomero g’obwannannyini era nnannyini KIARA City High e Bulaga ku lw’e Mityana, Asadu Kirabira awabudde UNEB okuvangayo
amangu ku nkyukakyuka ezikwata ku nsomesa kisobozese abasomesa, abazadde ne bannannyini masomero okubyetegekera.
Yagambye nti amasomero agamu gaalagajjala ne gatasindika bubonero bwa polojekiti mu UNEB ekyabaviiriddeko okufuna Result 2 ng'abamu balowooza nti UNEB ejja kubattira ku liiso.
Olw'okuba ng’omuzadde alina okugula ebikozesebwa mu polojekiti,kirungi n’abitegeera nga bukyali n’abyetegekera. Yawabudde UNEB okukwatagana
ne National Curriculum Development Centre babeere n'eddoboozi limu. Ku nkuuma y’ebibuuzo, Kirabira yagambye nti ensomesa eno yandibaamu ebirumira ng'abasomesa bagemulira abayizi obubonero ne babuweereza mu UNEB. Abayizi bwe bakola obubi kiyinza okuzibuwalira abasomesa okubiweereza. Muganga agamba olw'okuba
nti y'entandikwa, basuubira UNEB okutereeza ebitaagenze bulungi.
No Comment