Namulindwa alumbye abapangisa ba bba n’abakolako effujjo amatumbi budde
Feb 17, 2025
FLAVIA Namulindwa alumbye abapangisa ba bba nkubakyeyo Charles Kanyike Mpagi gw’agugulana naye olw’ebyobugagga n’abakolako effujjo.

NewVision Reporter
@NewVision
FLAVIA Namulindwa alumbye abapangisa ba bba nkubakyeyo Charles Kanyike Mpagi gw’agugulana naye olw’ebyobugagga n’abakolako effujjo.
Omu ku bapangisa ku nnyumba zino ezisangibwa mu Kinoonya Zooni e Masanafu, Hakim Balikwiza yategeezezza nti Namulindwa yabalumbye ku ssaawa 10 mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga era ebyabaddewo abinyumya bwati;
“ Tuli abapangoisa basatu ffekka abaasigala ku nnyumba zino. Ssaawa zaabadde ziwera 10 ng’obudde bukya, omu ku bannyina ba Namulindwa ayitibwa Moses eyasigala ku nnyumba zino n’ankonkona ng’ansaba ebisumuluzo bya ggeeti ennene aggulire Namulindwa wabula ne mutegeeza nti sibirina.
Nagenze okuwulira nga waliwo akoona oluggi lwa geeti n’amaanyi era waayise eddakiika mbale nagenze okulaba nga Namulindwa ali munda mu kikomera. Yatuukidde ku luggi lwange n’alukonkona nga bw’andagira okuggulawo mmuwe ebisumuluzo bya ggeeti ennene ayingize emmotoka ye eyabadde ebweru wa ggeeti.
Olw’okuba ggeeti eriko akaggi akatono mwe tutera okuyingirira kyabadde kyangu mwannyina wa Namulindwa eyasigala mu kikomera kino okumuggulira kuba buli omu aggulawo naye ng’ebisumuluzo bya ggeeti ennene landiroodi y’abirina,” Balikwiza bwe yannyonnyodde.
Yagasseeko nti, Namulindwa ebigambo bye yabadde avaamu yabadde tasobola kwetantala kuggulawo luggi lwa nnyumba ye era bakira amulabira mu ddirisa. Nti Namulindwa yatandise okulangira Balikwiza nti, “’mwe mwatandika ddi okubeera n’ebisumuluzo bya wano era ogw’obwasikaali mwagugatta ku bupangisa!?’
Yayongeddeko ng’amubuuza nti awo baliwo nga baani era bamaze emyezi emeka nga tebamuwa za bupangisa era n’amubuuza oba baaliyo ng’azizimba.
Nti mu kumwanukula yamutegeezezzaa nti ye tamumanyi era tamusasulangako ssente za bupangisqa..
Balikwiza yagambye nti okumanya Namulindwa yabadde mukambwe yamuyombeserezza wakati w’eddakiika 20 ne 30 naye nga taggulawo okutuusa lwe yamuvuddeko.
Omwaka oguwedde Hakim agamba Kanyike yabawandiikira ebbaluwa ng’abategeeza nti tebaddamu okuwa omuntu yenna ssente okujjako ye wabula anyumya nti teyasooka kumukikkirizaamu olw’okuba yali tamulabangako ng’alowooza mufere era mbu yasigala aziwa baganda ba Namulindwa okutuusa Ssentebe w’ekyalo bwe yabatuukirira n’amubanjulira kati gwe baziwa.
John Bosco Mutumba omuwandiisi w’olukiiko lw’ekyalo Kinoonya nga y’omu ku batabaganya ab’omukwano bano, yategeezezza nti naye amawulire yagategedde ku makya omu ku bapangisa bwe yamukubidde essimu ng’amubuulira ebyabaddewo Namulindwa bwe yabakozeeko olutalo n’effujjo.
Charles Kanyike bwe yatukiriddwa yategeezezza nti yalagidde balooya be okutwala ensonga zino ku poliisi.
Tonny Musoke mukwano gwa Kanyike agamba nti effujjo Namulindwa lyatandise okukola tebagenda kuligumiikiriza era basabye abakulembeze b’ekyalo okubayambako okulaba nga mwanyina wa Namulindwa abadde akyalemedde ku nnyumba zino azivaako mu bwangu.
Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde Namulindwa ne balooya ba Kanyike baasinsinkana mu kkooti ye Mengo era Namulindwa n’akalambira nga Kanyike bwalina okuwa amayumba gano asobole okuggyamu ssente z’okulabirira omwana gwalumirizza nti wa Kanyike.
Wabula omulamuzi ono yamuwa amagezi okweyongera mu kkooti enkulu kubanga ekkooti eno terina buyinza buwuliriza musango gya byabugagga obusoba mu bukadde 50.
No Comment