Omuvubuka ow'emyaka 27 akkakkanye ku nnamukadde ow'emyaka 70 n'amukaka akaboozi agenze okumuvaako nga mufu!

Feb 26, 2025

OMUVUBUKA kaggwensonyi Kato Henry Mbabali ow'emyaka 27 akakkanye ku Nnamukadde Samula Nakate owemyaka 70 n'amutusaako ogwobuliisa maanyi mu ttuntu ya leero kyoka wayise akabanga katono nnamukadde n'akutuka naafa. 

By Phoebe Nabagereka
Journalist @New Vision

OMUVUBUKA kaggwensonyi Kato Henry Mbabali ow'emyaka 27 akakkanye ku Nnamukadde Samula Nakate owemyaka 70 n'amutusaako ogwobuliisa maanyi mu ttuntu ya leero kyoka wayise akabanga katono nnamukadde n'akutuka naafa.

Bino bibade ku kyalo Kiwulwe e Kisubi mu gombolola ye Katabi mu district ye Wakiso.

Omu kubaana bomugenzi ategeezeza nti yaleese nyinna olunaku lw'eggulo nga olwaleero atumye mutabani we okulaba jjajjaawe nga bwasiibye kwekusanga omuvubuka Ono nga alibukunya okulilana namukadde, naddayo okutegeeza nnyina okujja okulaba embeera nga bweri.

Ono era agamba nti asanze nnyina nga akyali mulamu wabula nga amufiride mu ngalo nga naye tategede kiki ekivirideko nyina okufa.

Abakulembeze mu kitundu kino okuli ne sentebbe David Kasujja  bategeezeza nti bafunye amawulire nti omuvubuka Kato akoze ebyensonyi kumukadde nga nabo webatukide basanze Kato nga Ali bukunya okulirana namukadde naye abadde obukunya kwekumukwata ne bamutwala ku poliisi ya Bwerenga jaakumibwa kati.

Tutuseko ku poliisi eBwerenga gyetusanze omuvubuka Ono Kato n'atutegeeza nti namukadde yeyamukemye bweyamuyise mu kisenge kye okumutwalira amazzi kyoka yamusanze Ali bukunya ekintu ekyamuletedde okukemebwa.

Wabula Ono ayongedde n'ategeeza nti teyakozeseza namukadde nti yadenga yakemedwa tekyasoboze.

Maama wa Kato agambye nti mutabani we Kato naye yamulema nga yatuuse n'okumugoba ewaka amuviire adde mukyalo wabula naye kimubuseeko okuwulira nti yatusiza ogwobuliisa manyi ku mukadde.

Oluvanyuma poliisi okuva Entebbe etuuse n'eggyawo omulambo gwa Namukadde ne gutwalibwa mu dwaliro e Mulago ng'okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});