Omusajja atwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng'ali mu mbeera mbi, oluvannyuma lw'okwekumako omuliro ne yeeyokya okumpi ne palamenti mu Kampala.
Bino bibaddewo kumakya galeero omusajja ono abadde ayambadde ebyakyenvu, bwe yeekumiddeko omuliro okumpi n'omulyango oguyingira mu Parliamenti.
Omwogezi wa. Poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeegezza nti okunoonyereza kukolebwa.