OKUGABA ENSIGO;Kw’olabira omulwadde eyeetaaga okufuna endala

 AKULEMBERA eby’okulongoosa mu Uganda era nga mukugu mu by’ensigo, Polof. Frank Asiimwe, omwaka gwa 2023 nga guggwaako yakulembera okulongoosa n’okussa ensigo empya mu mulwadde eyali agyetaaga.

Omwana ng’ateekateeka enva endiirwa. Zino nnungi ku mulwadde w’ensigo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

 AKULEMBERA eby’okulongoosa mu Uganda era nga mukugu mu by’ensigo, Polof. Frank Asiimwe, omwaka gwa 2023 nga guggwaako yakulembera okulongoosa n’okussa ensigo empya mu mulwadde eyali agyetaaga.
Mu kukola omulimu guno, Polof. Asiimwe yakolagana ne ttiimu ey’abakugu okuva ku
ddwaaliro ly’omu Buyindi erya Yashoda Hospital. Okulongoos wakulungula essaawa nnya era oluvannyuma Dr. Aceng n’akakasa nti, omulwadde gwe bassaamu ensigo n’eyagimuwa bali mu   mbeera nnungi.
Abaalongoosebwa baayongedde okubeera obulungi kubanga mu December w’omwaka oguwedde gwe bassaamu ensigo ne munne eyagimuwa baalabiseeko mu Klezia y’oku yunivasite y’e Makerere eya St. Augustine ne awa obujulizi n’okwebaza buli  muntu eyabakwasizaako okulaba ng’obujjanjabi bwabwe buyitamu bulungi.
Bannayuganda bangi batawaanyizibwa obuladde bw’ensigo wabula nga abamu balwawo
okumanya ekituufu ate n’abategedde bagenda okukizuula nga buyise ne bafiirwa n’obulamu.
Abakugu bannyonnyola obuzibu bw’ensigo we buva, obubonero, ekisaanye okukolebwa
okubwetangira n’okubunogera eddagala singa bubeera bukutuuseeko.
EBIKA BY’OBULWADDE BW’ENSIGO N’EBIBULEETA
Omukugu mu by’ensigo, Dr. Robert Kalyesubula, annyonnyola nti: Obulwadde bw’ensigo bwawulwamu emirundi ebiri  okuli obugwaawo obugwi n’obwoobujja empolampola.
Obulwadde bw’ensigo,  obugwaawo obugwi butera kuva ku buwuka nga obulwaza olukusense, lubyamira, okuddukana, okusesema omusujja gw’ensiri  n’endwadde endala.
Obuwuka obusirikitu okuli obw’ekika kya vayiraasi, fangaasi, bakitiriya n’obulala  obugwa mu kkowe lino, bwe bumu ku buleeta endwadde zino ezivaako obulwadde
bw’ensigo obugwaawo obugwi.
Obulwadde bw’ensigo tebusiigibwa kuva ku muntu omu okudda ku mulala nga bwekiri
okugeza ku ssennyiga, wadde nga busobola okutambulira mu musaayi abaana oba abazzukulu ne balwala singa baalinayo jjajjaabwe eyabulwala.
OBUBONERO BW’ALINA ENSIGO ERWADDE
l Okuzimba mu maaso n’ebigere.
l Okufuna entunnunsi.
l Okulumizibwa mu kiwato, amagumba okunafuwa, ate nga oluusi n’okumenyeka gamenyeka.
l Okubulwa obwagazi bw’okulya, n’okukaluubirizibwa okufuluma ng’ogenze emmanju.
l Omusaayi okukendeera mu mubiri, kuba egimu ku mirimu  gy’ensigo kubeera kukola
musaayi, era bwe zirwala nga zinafuwa.
l Obungi bw’omusolo gw’ofuuyisa okukendeera. Wabula oyinza n’okufuuyisafuuyisa ennyo naddala obudde bw’ekiro, wabula ng’ofulumya mutono ddala.
ABASINGA OKUBEERA MU MATIGGA G’OKULWALA ENSIGO
Buli muntu asobola okulwala ensigo olw’embeera eziteebeereka, naye waliwo abasinga okubeera mu matigga g’okufuna ekizibu kino era nga ku bano kuliko:
1 Abalwadde ba sukaali ne puleesa.
2 Abalwadde ba kookolo, n’abantu abakuliridde mu myaka.
3 Abassibwa ku ddoozi ey’okumira eddagala eringi n’abakozesa eddagala eritta obulumi.
4 Abalina omugejjo n’abayitiriza okulya ebisiike, abettanira ennyama, abalya ennyo ate ng tebakola dduyiro.
5 Abatamiivu n’abanywi ba sigala ssaako ebiragalalagala ebirala. 6 Abafulumya omusaayi omungi okugeza abagwa ku bubenje, abakyala abaggyamu embuto,
n’abazaala ne bafulumya  omusaayi ogususse.
7 Abalwadde b’akawago, kuba obuwuka obulwazizza akawago  busobola okwambuka ne bulwaza n’ensigo.
8 Abafuna obuyinja mu nsigo.
9 Abanywa sukaali omungi  n’okulya omunnyo oguyitiridde wadde mufumbe.
ENSIGO ERWALIRA MU MITENDERA 5
Dr. Kalyesubula agamba nti, obulwadd bw’ensigm  n’obulabe bwabwo babugerera ku mitendera etaano:
1 Ku mutendera ogusooka, ensigo zibeera zikyasobola okukola emirimu gyazo ebitundu nga 90 ku buli 100.
2 Ku mutendera ogwokubiri, ensigo  zibeera zikola emirimu gyazo ebitundu ebiriwakati wa 60 ne 90 ku buli 100.
3 Ku mutendera ogwokusatu, wano zibeera zongedde okukendeera nga zikolako ebitundu 30 -60 ku buli 100 .
4 Ku mutendera ogwokuna, emirimu gyazo zibeera zikolako ebitundu 15-30 ku buli 100.
5 Ate ku mutendera ogwokutaano, era nga gwe gusembayo  ensigo zibeera tezikyasobola
kuweza bitundu 15 ku buli 100 eby’emirimu gye ziteekeddw  okukola mu mubiri gw’omuntu.
EYEETAAGA OKUSSIBWA KU KYUMA EKIKOLA NG’ENSIGO
Okussibwa ku kyuma ekikola ng’ensigo okukuyambako okufulumya  obutwa mu mubiri, kisobola okukolerwa abantu abaludde n’obulwadde bw’ensigo wamu
n’abo abataludde nabwo.
Wabula we bakuteekera kukyuma kino, obeera n’obucaafu obuyitiridde mu mubiri gwo, omunnyo gw’omubiri gwo gubeera gutabanguse, ng okyayagala kulya, ate nga buli
by’ogezaako okulya oba okunywa tebibandaalayo mu lubuto byonna ng’obizza.
Mu ngeri y’emu obeera ozimbye, akabonero akooleka nti obucaafu bungi mu mubiri gwo ebyetaaga okuyonja naye ng’ensigo tezikyasobola kubiyonja.
LW’OSSIBWAMU ENSIGO ENDALA
Ku mutendera ogusembayo (ogwokutaano) abakugu we balangiririr nti, ensigo ziremereddwa tezikyasobola kuyimirizaawo bulamu bwa muntu, ng’omulwadde
yeetaaga okuweebwa ensigo endala.
Mu kukulongoosa ensigo zo ezinafuye tebaziggyamu, wabula bongeramu bwongezi ensigo eyookusatu. Kino kikolebwa kiti kubanga ensigo zo nazo  zibeera zikyalina akatono ke ziba zikyayamba, wadde ziba tezikyasobola kwetengerera ne ziyimirizaawo
obulamu bwo zokka.
Agenda okussibwamu ensigo endala talina kubeera mu mbeera mbi, ate alina kubeera ng’asobola okulabirira obulungi ensigo emuweereddwa.
Ekirala, olina okubeera n’obusobozi obunaawangaala emyaka egisukka etaano okuva we
bakuteereddemu ensigo. Wabula oteekwa n’okubeera omwetegefu okumira eddagala kubanga assiddwaamu ensigo aweebwa ddagala lingi nga n’erimu alimira
obulamu bwonna bw’abeera asigazza ku nsi.
Abantu abali mu mbeera etebasobozesa kussibwaamu nsigo ndala kuliko:
l Abalwadde b’emitwe (abagudde eddalu), bano babeera
tebasobola kulabirira nsigo zibateereddwaamu.
OKUGABA ENSIGO
Kw’olabira omulwadde  eyeetaaga okufuna endalaAbatamiivu, ne bano babalirw mu ttuluba ery’abantu abatasobola kulabirira nsigo ebaweereddwa.
 Abalwadde b’emitima, ab’akafuba, aba kookolo, abalina akawuka ka siriimu n’abalina obulwadde bw’ekibumba obwa ‘Hepatitis B’. Abantu abalina obumu ku
bulwadde buno obumenyeddwa bonna okussibwamu ensigo endala balina okusooka okujjanjabwa endwadde zino kubanga bwe itajjanjabwa obuwuka obwazireeta
busobola n’okulwaza ensigo endala ezibateereddwaamu.
AGENDA OKUGABA ENSIGO
Waliwo ebitunuulirwa ku muntu agenda okugabira omulwadde ensigo era nga ku bino abasawo babeera baagala:
 Agenda okugaba ensigo nga yeesaliddewo awatali kukakibwa, ng’aweza emyaka 20 ate nga tasussa
55, era ng’ategeera bulungi.
 Talina kuba na bulwadde bwonna.
 Alina okuba n’ensigo bbiri.
 Talina kubeera muzzi wa
misango.
 Newankubadde n’atali mugandawo asobola okukuwa ensigo,  abasawo baagala nnyo owooluganda olw’okumpi kuba awo emikisa
gy’ensigo gye bakuwadde okukwatagana n’omubiri gwo gibeera
waggulu ko.
 Ekika ky’omusaayi gwammwe
kirina okuba nga kye kimu.
ENDABIRIRA Y’AGABYE ENSIGO NE GW’AGIWADDE
Dr. Kalyesubula annyonnyola nti, omuntu agabye ensigo tabeera nnyo na buzibu era ye akuumirwa ku ddwaaliro ennaku nga munaana zokka n’adda eka, wabula abeera
alina okwewala okusitula ebintu ebizito.
Ate munne gw’agabidde ensigo,ye alina okufi ibwako mu ngeri ey’enjawulo wakati mu kwegendereza.
Ono atera okukuumirwa ku ddwaaliro okumala wiiki nga bbiri oba okutuusa abasawo lwe bakakasa ng’esigo ze bamuwadde zitandise okukola obulungi. Ono ateekwa okwambala masiki okumala emyezi 3 ku 6 okutangira endwadde eziyinza
okumukwata.

Weewale okulya ennyama n’emmere ekaluubiriza ensigo.

Weewale okulya ennyama n’emmere ekaluubiriza ensigo.


Assiddwaamu ensigo abasawo bamuwa eddagala erikkakkanya amaanyi g’abaserikale abalwanyisa endwadde mu mubiri gwe okwewala ate okulwanyisa ensigo gye bataddemu nga balowooza mulabe. Wabula kino kiteeka omulwadde mu matigga g’okulumbibwa endwadde era aba alina okwegendereza  embeera n’ebintu ebitali bimu ebiyinza okumulwaza, kubanga erimu  ku ddagala erikkakkanya amaanyi  g’abaserikale b’omubiri gwe alimira obulamu bwe bwonna.
BY’OKOLA NE BYE WEEWALA NG’OSSIDDWAAMU ENSIGO
Agabye ensigo ye asobola okwegatta oluvannyuma lwa wiiki emu, wabula
 w’awadde ensigo ye aweebwa waakiri oluvannyuma lw’omwezi gumu n’esatu okwegatta.
Ekirala, assiddwaamu ensigo tamala galya na kunywa by’asanze naddala mu myezi esatu egisooka.
Ku by’alina okwewala okulya mu myezi esatu egisooka kuliko; ennyama, ebisiike, omunnyo ne sukaali omungi.
Alina okulya ebintu ebirimu ebiriisa ebyetaagibwa omubiri. Alina okwettanira, enva endiirwa omuli; nnakati, ejjobyo, doodo, ebbugga,  emboga, katunkuma n’ebirala.
Okulya ebibala ng’ebitaffeeri, ffene, amapeera, emiyembe wootameroni, obutunda, ennaanansi, emicungwa n’ebirala.
AMATEEKA KU NSIGO
Etteeka lya Uganda erikwata ku kugaba n’okukyusa ebitundu by’abantu eby’omunda erya ‘Uganda Human Organ donation and transplant Act 023’, ligamba nti, tewali akkirizibwa kutunda nsigo era bwe wabaawo omulwadde agyetaaga olina kugimuwa ku bwereere. Bw’ogimuguza obeera omenye etteeka, era ovunaanibwa, eddwaaliro erikulongoosezza okugikuggyamu nalyo ne balivunaana. Mu ngeri y’emu eyakoze obwakayungirizi mu kugitundan’agiguze nabo bavunaanibwa.
Ekimu ku bibonerezo bye muweebwa kya kuggalirwa mu kkomera
emyaka egitakka wansi wa 20 oba okutanzibwa obutitimbe bwa ssente