Omulangira eyagwa ku kabenje mu 2005 afudde yaakamala emyaka 20 ng’assiza ku byuma

OMULANGIRA w’e Saudi Arabia Al-Waleed bin Khalid Al-Saud, amaze emyaka 20 nga tamanyi biri ku nsi, amaze n’afa ng’ekirooto kya kitaawe eky’okumuzza engulu tekituukiridde. 

Omulangira eyagwa ku kabenje mu 2005 afudde yaakamala emyaka 20 ng’assiza ku byuma
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Saudi #Kussa

OMULANGIRA w’e Saudi Arabia Al-Waleed bin Khalid Al-Saud, amaze emyaka 20 nga tamanyi biri ku nsi, amaze n’afa ng’ekirooto kya kitaawe eky’okumuzza engulu tekituukiridde. 

Al-Waleed amaze emyaka 20 ng’obulamu bwe butambulira ku byuma oluvannyuma lw’okufuna akabenje ak’omutawaana nga wa myaka 15 mu 2005. 

Omulangira Eyafudde.

Omulangira Eyafudde.

Akabenje kano yakafunira Bungereza gye yali agenze okusoma eby’ekijaasi, n’afuna obuvune ku bwongo. Abasawo abakugu baamwanguyira ne bamuteeka ku byuma n’asobola okusigala ng’assa, kyokka nga tayogera ate nga tewali ky’ategeera ku bigenda mu maaso. 

Kitaawe Khalid bin Talal Al Saud, yamulinnyisa ennyonyi ne bamutwala e Saudi mu ddwaaliro amatiribona erya King Abdulaziz Medical City erisangibwa mu kibuga Riyadh ne batandika okumujjanjaba. 

Okusinziira ku mukutu gwa Daily Mail ogufulumira e Bungereza, Khalid yaleeta abasawo abakugu okwetooloola ensi ne babeera ku mutabani we, ng’ayagala bamuzze engulu, kyokka ne birema, era ne bamuwa amagezi nti okusinziira ku mbeera ye n’amaanyi ge bataddemu, kizibu omwana ono okuddamu okutegeera ne bamusaba akkirize bamuggyeko ebyuma ebiyamba omutima okukuba n’okussa, afe mu mirembe. 

Wabula kino Khalid yakigaana, era n’asigala ng’aleeta abasawo abasinga amaanyi ku nsi bazze mutabani we engulu. Mu 2015 yafunamu essuubi, mutabani we bwe yasitula omukono akwate ku mukyala eyamuli okumpi ng’agezaako okumwogeza. Mu katambi akaafulumizibwa, omukyala ono ayogera nga bw'amugamba asitule omukono amukwateko, era baagenda okulaba ng’omulwadde asitula omukono, enduulu ne zivuga. 

Essuubi lyeyongera mu lulyo olulangira, nti oba oli awo mulangira munnaabwe agenda kudda engulu, kyokka emyaka 10 egiyiseewo abadde taddangamu kwenyeenya, okutuusa kitaawe bwe yasazeewo bamuggyeko ebyuma agende ewa Mukama Katonda. 

Al-Waleed yazaalibwa nga April 18, 1990 era ye mwana omukulu owa kitaawe Khalid ne nnyina al-Jazi bint Saud. Yali aweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira embeera y’abalangira, era okumutwala mu ttendekero ly’amagye e Bungereza, kitaawe yali ayongera kumuteekerateekera buvunaanyizibwa buno. 

Kyokka mu mwaka gwe yamusindikiramu e Bungereza, era gwe yafuniramu akabenje akaakosa ennyo obwongo bwe, n’abeera mu kkoma okumala emyaka 20 okutuusa bwe yafudde. Al-Waleed bamusaasaanyirizzaako obulindo n’obulindo bw’ensimbi, mu basawo ab’amaanyi ababadde bakola emisana n’ekiro okumala emyaka 20. 

Waliwo obutambi obubadde buteebwa olulyo olulangira mu Saudi, nga balaga engeri gye batimbyemu ekisenge ky’eddwaaliro Al- Waleed mwabadde asula naddala mu mikolo nga Eid, okwetegekera ekisiibo, n’okukuza olunaku Saudi Arabia lwe yatondebwawo ng’eggwanga ery’awamu mu 1932, nga akabonero ak’okumussaamu ekitiibwa ng’omulangira omujjuvu.