Vipers ejjukidde Lawal
Mar 04, 2025
Vipers 1-0 Mbarara City Lwakuna mu liigi 10:00 Police - Vipers, Kavumba Lugazi - Express, Najjembe OBWEYAMO bw'okuwangula ekikopo kya liigi ya sizoni eno ku lw’omuzannyi waayo, Abubakar Lawal, eyafudde wiiki ewedde, ebutandise na maanyi.

NewVision Reporter
@NewVision
Vipers 1-0 Mbarara City Lwakuna mu liigi 10:00 Police - Vipers, Kavumba Lugazi - Express, Najjembe OBWEYAMO bw'okuwangula ekikopo kya liigi ya sizoni eno ku lw’omuzannyi waayo, Abubakar Lawal, eyafudde wiiki ewedde, ebutandise na maanyi.
Yawangudde Mbarara City (1-0) e Kitende ku Lwomukaaga n’ewanula NEC FC ku ntikko. Lawal, enzaalwa ya Nigeria, yaziikiddwa eggulo e Sokoto mu Nigeria. Poliisi yategeeza nti yawanuka ku kizimbe kya Voice Mall e Bwebajja ku lw'e Ntebe n’agwa n’afa.
Omupiira gwa Mbarara gwe gwasoose bukya Lawal afa era mu dduwa y'okumusabira eyategekebwa mu kisaawe (St. Mary's Stadium) e Kitende ku Lwokuna, nnannyini Vipers, Dr. Lawrence Mulindwa, ne kapiteeni Milton Karisa beeyama okulwana bawangule liigi ku lwa Lawal. Obuwanguzi bwatutte Vipers ku bubonero 43 ate NEC, eyakubye Lugazi (2-0) ku Lwomukaaga, erina 40. Vipers yabugumidde mu bujoozi
obwa kiragala, langi esinga okukozesebwa ttiimu y’eggwanga eya Nigeria, okujjukira Lawal. Ku bujoozi kwabaddeko ekifaananyi kya Lawal n’ebigambo 'Forever In Our Hearts' ebivvuunulwa nti “Tolituva ku mwoyo”. Nnannyini Vipers, Dr.
Lawrence Mulindwa, yassoose kufalaasira bazannyi bano okulwana okusitukira mu
liigi basasule Lawal kuba yafudde n’obweyamo bw’okukiwangula. Vipers edda mu nsiike ku Lwokuna bw’enettunka ne Police e Kavumba mu disitulikiti ya Wakiso
No Comment