Paapa Francis azzeemu okulemererwa okussa abasawo ne basattira

Abakatoliki mu nsi yonna, bw'alemereddwa okussa ne baddamu okumussa ku byumaby’abadde yakavaako ennaku bbiri emabega.

Paapa Francis
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PAAPA Francis azzeemu okweraliikiriza
Abakatoliki mu nsi yonna, bw'alemereddwa okussa ne baddamu okumussa ku byuma
by’abadde yakavaako ennaku bbiri emabega.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Vatican eggulo kyalaze nti waliwo ebiwagamidde mu mawuggwe ga Paapa ne bimulemesa okussa, ekyaleese akasattiro mu ddwaaliro okukkakkana nga bamuzzizza ku byuma. Amawuggwe nago abasawo baaganuunyeemu
ebyabadde biwagamidde n’akkakkana kyokka ne bamuleka ku byuma ebimuyamba
okussa nga bwe beetegereza embeera ye.
Olwaleero nga Abakatoliki batandika ekisiibo eky’ennaku 40 mu butongole, Paapa tagenda kwetaba ku mikolo gy’okusiiga evvu e Vatican, olw’embeera
ey’obugonvu gy'alimu, era abakulu e Vatican baasabye Abakatoliki mu nsi yonna okuteeka Paapa mu ssaala assuuke obulungi.
Okuva Paapa bwe baamuddusa mu Gemelli Hospital, nga February 14,2025, yaakalumbibwa obulwadde obukambwe obumulemesa okussa emirundi esatu,
era emirundi gyonna babadde bamussaako ebyuma ebiyamba okussa.
Abakatoliki bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku Basillica y’omutukuvu Petero e Vatican, okusabira Paapa, era ebifaananyi ebivaayo biraga abantu nga bakutte ssappule ze basoma nga bawanjagira Katonda amutaase. Okusinziira ku mukutu gwa BBC, embeera ya Paapa ekyali nzibu nnyo, era obulamu bwe tebunnaba kuva mu katyabaga
ng’abasawo basula batunula okulaba nga bataasa obulamu bwe. Paapa okulwala kyaddirira okumala wiiki bbiri ez’omuddiring’anwa ng'akola nnyo omubiri gwe ne  unafuwa. We yamalirayo eng'endo ezo, yali takyasobola kwesomera bubaka bwe, nga abayambi be, be babusoma. Endwadde ezeekuusa ku kussa zizze zitawaanya Paapa Francis, okuva edda ng'akayali muvubuka, nga bwamuviirako okulongoosebwa  mawuggwe ne bagasalako ekitundu. Francis yafuna Obwapaapa mu 2013,
oluvannyuma lw’okulekulira kwa Paapa Benedict XVI.