Paasita afuumuddwa mu nnyumba lwa kulemererwa kumalayo ssente za Poloti mw'eri
Mar 10, 2025
OMUSUUBUZI afuumudde Paasita w’abalokole mu nnyumba gyeyali yamuguza kukibanja mpola lwa kulemererwa kusasula ssente n'azimalayo
By Peter Ssaava
Journalist @New Vision
OMUSUUBUZI afuumudde Paasita w’Abalokole mu nnyumba gye yali yamuguza ku kibanja mpola lwa kulemererwa kusasula ssente n'azimalayo ate n'amala ne yEefunza ennyumba okuli okuzimbako ekikomera.
Nsamba Ku Kkono Ne Okiror Nga Beerangira Ebisongovu.
Mohammed Nsamba, ye yakalidde mu musumba Charles Peter Okiror owa Through Jesus Christ Ministries International e Bwaise n’amufulumya mu nnyumba gy'abadde yamuguza obukadde 43 kyokka Okiror n'alemwa okumalayo ssente.
Ennyumba eno esangibwa ku kyalo Kikadde-Namusera mu Wakiso, nga Nsamba yagiguza Okiror mu 2022 era ne bakola endagaano nga waakugisasula okumala omwaka gumu, nga wano Okiror yasasulako obukadde 5 mu kusooka.
Nsamba yategeezezza Bukedde nti Paasita Okiror baali bamukwano, wabula Omusumba n'atuuka n'afuna obuzibu bwa ssente, ne bamugoba gye yali abeera olw’obutasasula za bupangisa, era Nsamba nti n'amukwatirwa ekisa n'asalawo okumuguza ekibanja kye omwali n’ennyumba.
Ennyumba Eyalema Okiror Okusasula Okumalayo.
Yayongeddeko nti Okiror ng’amaze okusasulako obukadde 5, yamwongerayo obukadde 12 n'ekitundu kyokka ezo ze yakomako olwo n'atandika okwebuzaabuza era ekyaddirira kulemererwa kusasula ssente ezaali zisigaddeyo.
“Yatuuka ekiseera n'agenda mu bbanka emu n'asingayo ekifo kyange, era n'afunayo looni n'agamba nti ampaayo obukadde 18. Kyokka olw’okuba yali antambuzza ebbanga, nazigaana ndowooza ssente n'asalawo kuzirya.” Nsamba bwe yayongeddeko.
Nti ono yalaba takyalina ky'ayinza kufuna mu Okiror, yasalawo okuddukira eri akakiiko k’ekyalo kya Namusera era ssentebe n’akakiiko ke ssaaka abatuuze abamu ne batandika okuyingira mu nsonga zino okulaba bwe bazigonjoola.
Ekikomera Okiror Kye Yateeka Ku Nnyumba Ya Nsamba.
Ssentebe Francis Ssempijja oluvannyuma lw’okutuula mu nsonga zino, Okiror yakkiriza ekirowoozo kya Nsamba okutunda ennyumba amuddize (Okiror) ssente ze era wano Nsamba n'afuna omuguzi eyali omweteefuteefu okugigula.
Ssempijja yagambye nti Nsamba ng’agobye ssente Okiror ze yali amuleetedde, teyazizza mu bbanka era ekyaddirira bbanka kutandika kubanja na kwagala kubowa poloti.
Nsamba yanoonya ssente Okiror ze yali yeewola mu bbanka era n'azisasula n'asaba Okiro okwamuka ennyumba ye.
Ku Lwokutaano, waabaddewo okuwaanyisiganya ebisongovu wakati wa Nsamba ne Okiror nga Okiror yeewera nga bw'atayinza kuva mu nnyumba okuggyako nga Nsamba amuwadde obukadde 5 ze yateeka ku kikomera.
Nsamba Eyaguza Okiror Ekifo.
Kyokka Nsamba yagambye nti mu kutunda ekifo kye, tebaateesaako byakuzimba kikomera era n’endagaano tebyogerako, n'akalambira okuwa Okiror ssente ate n'amulagira okwamuka ennyumba kuba yagitunze.
Paasita Okiror yamaze 'nagonda kyokka n'asabayo wiiki emu yeetereeze alyoke ave mu nnyumba, eyaguze ennyumba eyategerekeseeko erya Dan yagaanye okubiwuliriza, era okukkakkana nga Okiror bamufulumizza ku kifuba mu nsitaano eyamaze essaawa 6 nnamba.
Okiror yagonze era n'atikka ebintu ku mmotoka eyamusengudde okumutwala mu kifo ekirala nga bw'alinda ekiddako. Yagambye nti Katonda omulamu gw'asinza ajja kumuvvuunusa embeera eno.
No Comment