Abali ku luguudo lwa Kira -Matugga bakaaba;
Mar 13, 2025
KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja akutte essimu n’akubira aba minisitule y’amazzi ne kazambi ku by’oluguudo lwa Kyaliwajjala - Kira -Namugongo -Matugga.

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja akutte essimu n’akubira aba minisitule y’amazzi ne kazambi ku by’oluguudo lwa Kyaliwajjala - Kira -Namugongo -Matugga.
Bayinginiya ba minisitule y’ebyenguudo n’entambula ssaako ne kkampuni eyapatanibwa okukola oluguudo luno baategeezza Nabbanja nti aba minisitule y’amazzi ne kazambi balina payipu y’amazzi ennene egajja e Katosi eri mu kifo enguudo wezigenda okuyisinganyiza n’ezimu ziyita wansi ate andala waggulu ekimanyiddwa nga (Interchange) okuliraana essomero lya Vienna College -Mamugongo n’eddwaaliro lya Life-Link.
Nabbanja yatuuse mu kifo ekyogerwako n’okulambula oluguudo lwonna ng’obuzibu obusinga buli ku kontulakita okuba ng’abanja ssente nnyingi ate ng’abatuuze abaakosebwa oluguudo abatannaliyirirwa bakyali bangi.
Mu kifo kino mmotoka eziva e Naalya okudda ku biggwa by’Abajulizi e Namugongo zigenda kuba nga ziyita waggulu ate ezo eziva e Kira okudda e Kireka nga ziyita wansi ssaako n’okuteekawo awayita abatambuza ebigere awagazi.
Nabbanja agamba nti ebitongole bya gavumenti byandibadde tebyekuba mpawa kuba wadde ng’okukola oluguudo luno kwasenze amazzi gaayisibwawo, naye enteekateeka y’oluguudo luno yakokebwa dda.
Oluuudo luno olwatandika okukolebwa mu gwa 2021 nga lwalina okuggwa mu February wa 2024 lwayongezeddwaayo okutuuka mu February 2026.
Oluguudo luno luli mu bitundutundu omuli Kira-Kasangati -Matugga (16km), Kireka -Kyaliwajja -Link (2Km).
Ekirala kuliko Najjeera -Buwaate (5Km)
Oluguudo luno lwapatanibwa kkampuni y’Abachina eya Chibgqing International Construction corporation (CICO).
Ssente ezaali zibaliriddwa nga zerugenda okuwemmenta ezaali obuwumbi 200 n’obukadde 300 n’ezigwamu nate zeeyongeramu okutuuka ku buwumbi 222 n’ezigwamu.
Okugenda akasoobo mu kukola oluguudo luno kivudde ku natuEyaliuze abaakosebwa abamu abatannaliyirirwa bintu byabwe.
Abatuuze enguudo gye ziyita beemulugunya olw’okukolebwa akasoobo ekibattidde bizinensi zaabwe n’okubalwaza olw’enfuufu efuumuuka buli lunaku
No Comment