Ababaka bawagidde ekya Gavumenti okutwala amagye e South Sudan okukuuma emirembe
Mar 15, 2025
ABABAKA ba NRM bawagidde ekya gavumenti okutwala amagye ga UPDF e South Sudan okukuuma emirembe, ne bagamba nti kigenda kuyamba okukuuma eby’enfuna by’eggwanga n’ebyokwerinda.

NewVision Reporter
@NewVision
ABABAKA ba NRM bawagidde ekya gavumenti okutwala amagye ga UPDF e South Sudan okukuuma emirembe, ne bagamba nti kigenda kuyamba okukuuma eby’enfuna by’eggwanga n’ebyokwerinda.
Kino kiddiridde Pulezidenti wa South Sudan Salva Kiir okuwanjagira Pulezidenti Museveni asindike amagye ga Uganda gamuyambeko okukuuma emirembe n’okukkakkanya obunkenke obuli mu nsi ye, oluvannyuma lw’okutabuka n’omumyuka we Riek Machar.
Kinajjukirwa nti Kiir ne Machar bakkaanya mu 2018, okukola gavumenti eya wamu, oluvannyuma lw’emyaka ettaano nga balwanagana mu butabanguko omwafiira abantu abakunukkiriza mu mitwalo 40.
Wabula, akalembereza akabaddewo nako kati kaaweddewo, oluvannyuma lwa Pulezidenti Kiir okufuumuula abakungu ba gavumenti abamu ng’akola enkyukakyuka, ate nga be yagobye basajja ba Machar ab’oku lusegere, ekyaleetedde oludda lwa Machar okuwakanya enkyukakyuka zino.
Okusinziira ku mukutu gwa Deutsche Welle ogufulumira e German, obutabanguko bwatandise dda mu kitundu ky’e Bahr al-Ghazal, nga abantu b’eggwanga ly’aba Nuer, Machar gyava, bawakanya okugoba abantu baabwe mu gavumenti nga Kiir tamaze kwebuuza ku mumyuka we Machar.
Nnampala wa gavumenti mu Palamenti Hamson Obua yagambye nti Uganda yasindise abajaasi baayo e South Sudan, era mu nsinsikano ababaka ba NRM gye baabaddemu mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, bakkaanyizza nti olw’obulungi bw’eggwanga, ekiteeso kino bwe kijja mu Palamenti balina okukiwagira n’amaanyi.
Uganda efuna nnyo mu busuubuzi ne South Sudan, ng’okusinziira ku bibalo ebiri ku mukutu gwa Observatory of Economic Complexity (OEC), mu mwaka 2023, Uganda yatunda eby’amaguzi e South Sudan ebiweza obukadde bwa ddoola za America 536, nga muza Uganda ziba 1,964,721,100,000/= (Obuwumbi 1,964, n’obukadde 721 mu emitwalo 10).
Ssinga olutalo lubalukawo, Uganda eba eyolekedde okufiirwa ssente zino zonna n’okussukkawo, kubanga eby’obusuubuzi biba birina okuyimirira olw’obutabanguko bw’entalo.
No Comment