Omuvuzi wa bodaboda atemuddwa mu bukambwe abantu abatannamanyika ne bakuuliita ne pikipiki ye.
Bibadde ku kyalo Takira 2 mu muluka gwa Kasuleeta mu ggombolola y'e Bumanya mu disitulikiti y' e Kaliro, abazigu bwe bateeze Bwoya Titus Kunya omutuuze w'e Nansohera mu ggombolola y'e Gadumire ne bamutta.
Kigambibwa nti omugenzi abadde ava kulaba ku kitaawe nti kyokka mu kudda ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro, abazigu bamukubye ekiti ku mutwe ne bamutta, omulambo ne baguwalula ne baguleka mu nsiko ne babulawo ne pikipiki nnamba UFB 625 D Bajaji Boxer.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Micheal Kasadha, agambye nti omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Bumanya Health Centre 4, ng'okuyigga abatemu bwe kugenda mu maaso.