Kusasira bamubanja obukadde 200

Mar 18, 2025

OMUYIMBI Catherine Kusasira - Maama kabina, bamuwenja asasule obukadde 200 ze yaweebwa ng’atunda emmotoka Pulezidenti Museveni gye yamuwa ng’ate teyalina kugitunda.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

OMUYIMBI Catherine Kusasira - Maama kabina, bamuwenja asasule obukadde 200 ze yaweebwa ng’atunda emmotoka Pulezidenti Museveni gye yamuwa ng’ate teyalina kugitunda.
Abamubanja be ba kkampuni ya Kubeera Motors and General Agencies mu Kampala abagamba nti, Kusasira yabaguza emmotoka eyo ku bukadde 210 ng’obukadde 10 za ba bbulooka abaabatwalira omulimu, kyokka mmotoka yabadibirira.
Dan Nimwesiga Mbasa ow’ebikwekweto mu kkampuni eyo agamba nti, Kusasira bwe yafuna mmotoka eyo, Toyota Land Cruiser V8 modulo 2020 nga mpya, yagibaguza mu ngeri ya kugibasuubuza nabo bafuneko amagoba kyokka yabalema okutunda kati emyaka gigenda mu esatu ssente zaabwe zaafiirayo kati bazaagala.
LWAKI BAAGALA KUSASIRA ABADDIZE SSENTE NG’ATE YABAWA NE KKAADI YAAYO NG’ERI MU MANNYA GE?
Mbasa yategeezezza Bukedde eggulo nti, bazze batunda mmotoka eyo ku bukadde 350 era nga bafuna abagigula kyokka nga beekuba ne bagirekawo.
“Eyasembayo okugigula bwe twakkaanya, twagenda mu bbanka kyokka aba aggyayo ssente n’ava mu ddiiru. Bwe twamubuuza yagamba nti emmotoka yaffe erina ekizibu. Yatugamba nti tubuuze eyagituguza kubanga akimanyi.
Twasooka kubuuza ba byamisolo aba URA ne batugamba nti, emmotoka eriko kye bayita ‘red flag’ ekitegeeza eriko obuzibu tesobola kukyusibwa kugenda mu mannya malala. Bwe twabuuza Kusasira yatutegeeza nti Pulezidenti mmotoka yagimuwa nga kirabo. Yatugamba nti yamanya oluvannyuma nti mmotoka eyo ya Gavumenti tesobola kutundibwa. Kwe kumugamba atuddize ssente zaffe kyokka lubadde lutalo lwa kuzituddiza okutuuka kati tazituwanga ate nga tulina okuzikozesa bizinensi. Kati yatubuze nti yagenze bweru oba yadduse tetumanyi.”
Yagasseeko nti, ne bwe baatwala Kusasira mu kkooti abawe ssente zaabwe era yagaana okulabikako nabyo ne bibalema. Nti baamuwa obukadde 200 ze baamugulako emmotoka n’obukadde 10 ze baawa babbulooka abaabaleetera ddiiru, kati baagala abaddize 200 ze baamukwasa.
ENSONGA ZA MMOTOKA YA KUSASIRA BWE ZIZZE ZIMUGULUMBYA
l MU 2020, Pulezidenti Museveni yawa Kusasira mmotoka ey’amaanyi nnamba UBF 610S akole bulungi emirimu gye ng’omuwabuzi we n’okumusiima ng’omuwagizi wa NRM atakyukakyuka.
l Mu 2021, Kusasira yagamba nti mmotoka emulemye olw’ebigyetaagisaako ebingi omuli n’amafuta.
l Mu 2022, yagiguza aba kkampuni ya Kubeera Motors obukadde 200 nabo abaatandika okugitunda obukadde 350Mu 2025, Kusasira ne be yagiguza, bakyalya matereke nga baagala ssente zaabwe kubanga emmotoka ebadibiridde.
KUSASIRA BYE YAGAMBYE BUKEDDE KU BUKADDE 200 N’EMMOTOKA
Bukedde yatuukiridde Kusasira eyategeezezza nti, ali mu America mu ssaza ly’e California mu kibuga Los Angeles gye yagenda okumujjanjaba. Agamba nti emmotoka yamulema bulemi n’agiguza kati abamubanja.
Agattako nti, nabo bwe yabalema okutunda ne bamusaba abaddize ssente zaabwe, naye ezaamulema kubanga yali yaakava mu kusoomooza kwa COVID-19 ng’alina amabanja n’ebyetaagisa ebyali bimumalawo n’azikozesa.
Kyokka yannyonnyodde nti, abaagimugulako baagikyusa ne bagiteeka mu mannya gaabwe naye bwe baagezaako okugitunda ate ne bategeezebwa nti, tebasobola kugizza mu mannya ga muguzi mulala kubanga ya Gavumenti.
Bwe yabuuziddwa lwaki aba kkampuni baagikyusa ne bagizza mu mannya ga kkampuni eyagugula ate nga tekisoboka kugizza mu mannya ga mulala abeera agiguze, yazzeemu nti naye tamanyi lwaki.
Yeebuuza ku bategeera ebintu bya Gavumenti ne bamunnyonnyola nti emmotoka eyo kituufu Gavumenti yagimuwa era erinnya mu mannya ge emuyamgbe okukola emirimu gye, kyokka era si yiye, tagirinaako bwannannyini bwankomeredde obukukkiriza okugitunda. Nti bw'aba agikooye alina kugizzaayo mu Gavumenti.
“Naye bwe byannemerera, nnasalawo okunoonya Muzeeyi (Pulezidenti Museveni), annyambe awe abasajja be nnaguza emmotoka eyo ssente zaabwe baginzirize n’akkiriza. Obuzibu abantu be yankwasa tebakwata ssimu yange simanyi lwaki.” Kusasira bwe yategeezezza ku ssimu eggulo.
Yawunzise agamba nti, mmotoka ne bwe bagiggyako envumbo ne bamukkiriza agitunde, kirimu obuzibu eri be yagiguza kubanga batya nga balowooza nti era kiyinza okubaddira essaawa yonna nga balina gwe bagiguzizza ng’emulemeredde.
Nga yaakaweebwa emmotoka eyo era Kusasira abantu baamuyeeyanga nti ssente ezo zandikozeemu ekirala.
Yategeeza bwe yali agitunda nti mu kusooka nti, waliwo abantu b’asanga ne bamutegeeza nti ssente ezo bandizizimbyemu waakiri eddwaaliro ne liyamba abantu abangi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});