Ensonga z'okwongera Mubajje ekisanja zongedde okulanda

Mar 18, 2025

ABASIRAAMU abawakanya eky’olukiiko lwa b’abasiraamu okuddamu okwongera Mufti wa Uganda Dr. Sheik Shaban Ramathan Mubajje ekisanja bamaliridde okumusuuza entebe kati ensonga bazitudde mu palamenti.

By Patrick Kibirango
Journalist @New Vision

ABASIRAAMU abawakanya eky’olukiiko lwa b’abasiraamu okuddamu okwongera Mufti wa Uganda Dr. Sheik Shaban Ramathan Mubajje ekisanja bamaliridde okumusuuza entebe kati ensonga bazitudde mu palamenti.

Wiiki ewedde nga March 12, 2025, ekisanja kya Mubajje mu ofiisi y’obwamufti lwekyaggwaako oluvannyuma lw’okuba nti yabadde amaze okuyisa emyaka 70 egiragirwa mu ssemateeka wa Uganda ate nga n’emyaka 10 mufti gy’alina okumala mu ofiisi okusinziira ku ssemateeka w’obusiraamu omupya owa 2022 nagyo lwe yagimazeeko okuva bweyalayizibwa ku bwa Mufti mu November wa 2000.

Poliisi ng'etangira Kiyimba ne banne okutwala ekiwandiiko ewa Speaker

Poliisi ng'etangira Kiyimba ne banne okutwala ekiwandiiko ewa Speaker

Era Abasiraamu bana okuli; Swaibu Nsimbe, Twayibu Byansi, Musa Kalokora ne Musa Kasakya nga bayita mubannamateeka baabwe aba Sewankambo and Company Advocates ku lunaku olwo lwennyi baddukira mu kkooti enkulu ku Twed Tour nga bagisaba ekugire Mubajje okuddamu okuweereza mu kifo ky’obwamufuti olw’ensonga nti obukwakulizo bwonna obuli mu ssemateeka bumukugira.

Omulamuzi Emmanuel Baguma yalagira Mubajje ne banne obutagezaako kwerayiza naasuubiza nti bwe banaakikola byonna be byanaakola agenda kubijungulula era nassaawo olwa March 24, 2025, okutandiika okuwulira omusango

Kyokka Olwokuna nga March 13, 2025, ssentebe wa Uganda Muslim Supreme Council, Hajji Prof. Dr Muhammad Kisambira Lubega yasinziira mu ttabamiruka eyatuula ku kitebe kya UMSC e Kampalamukadde n’ategeeza nti olukiiko lw’abamaanyi olwa Majlisi Ulama bwe lwatuula lwalaba nga tewali tteka lyonna lye lumenya bwelwongera Mubajje n’omumyuka we Sheik Ahamed Ali Waiswa e Kisanja eky’emyaka etaano.

Leero ekiwayi ky’abasiraamu ekirala nga bakulembeddwamu eyaliko omubaka wa palamenti ow’e Bamunaanika, Ali Ndawula era nga ye ssentebe w’abasiramu e Luwero baagenze ku palamenti ne batwala ekiwandiiko ky’okwemulugunya kwabwe eri sipiika wa palamenti nga baagala palamenti eyingire mu nsonga z’obusiraamu.

Kiyimba ng'alaga ekiwandiiko kyebatwala ku Palamenti

Kiyimba ng'alaga ekiwandiiko kyebatwala ku Palamenti

Ku palamenti tebasobodde kulaba sipiika Anita Among kubanga webaatuukidde nga tali mu ofiisi wabula baabakiriza okutuuuka mu ofiisi evunaanyizibwa ku biwandiiko (Records procurement office) gye basanze be baakwasizza ekiwandiiko kyabwe era be kikonebwako sitampu ekakkasa nti okwemulugunya kwabwe kufuniddwa mu butongole.

Kyokka nga batwala ekiwandiiko wabaddewo okwezooba wakati wabwe ne poliisi y’e Wandegeya bwebadde ebalemesa okutambulira mu kibinja era okukkana ng’ebalonzeemu abantu 10 bokka bekkiriza okutuuka ku palamenti

Ekkumi abalondeddwamu okubade Hajji Abdul Kiyimba, Isa Guule mmemba w’olukiiko lwa general assembly era ssentebe wa UMSC ow’ekiwayi kya Sheik Ssemambo eyali omumyuka wa Mubajje n’abalala basoose kutwalibwa ku poliisi e Wandegeya ebavuze mu mmotoka zaayo okubatwala ku palamenti okutwala ekiwandiiko oluvannyuma ne bazaayo ku muzikiti e Wandegeya webaabadde bakungaanidde.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});