Aba Kira Munisipaali basiimye amasomero agaakola obulungi ebya PLE 2024
Mar 19, 2025
Aba Kira Munisipaali banjudde embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi 2025/ 2026, basiimye amasomero ga Pulayimale gonna mu Kira agaakola obulungi ebigezo mu mwaka oguwedde, ne babakwasa engule y'okubeera abazira mu nsiike y'ebyenjigiriza mu masomero gonna agali mu munisipaali eno.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya MADINAH NALWANGA
Aba Kira Munisipaali banjudde embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi 2025/ 2026, ne basiima n'amasomero ga Pulayimale gonna mu Kira agaakola obulungi ebigezo mu mwaka oguwedde, ne babakwasa engule y'okubeera abazira mu nsiike y'ebyenjigiriza mu masomero gonna agali mu munisipaali eno..
Mu masomero agaweereddwa engule kuliko; Good Foundation Primary School, e Namugongo eyafuna obubonero 100 ku 100 n'esinga mu Kira yonna, Kira Primary School, Kamuli Church of Uganda Primary School, Namugongo Girls Primary School, Tooto Ndiwulira e Mbalwa ng'eno yakwata kya 6, Homesdallen Primary School e Kirinnya, St. Kizito Primary School Namugongo ne Shimon Demonstration School erisangibwa e Kitikifumba.
Amyuuka Mmeeya Wa Kira Rashida Nannyonga
Abakulu Bamasomero Ga Primary Agaasinze Okukola Obulungi Mu Uneb Mu Mwaka Oguwedde Nengule Zaabwe.jpg
Amyuka Mmeeya wa Kira, Rashida Nannyonga abasomedde embeera ya Kira nga bw'eyimiridde, n'asaba gavumenti ebongere ku misaala gy'abasomesa kubanga bbo nga Kira bafubye okulaba nga bateeka ebyo ebibaweereddwa oba ebirina okukolebwa mu nkola.
Nannyonga era avumiridde n'ekikolwa ky'okukuba abantu mu ngeri y'ekyeyonoonere nga tebalina musango, nga bwe baakola Mmeeya wa Kira Julius Mutebi Nsubuga gw'amyuka mu kalulu k'e Kawempe nga talina ky'akoze.
Akulira Ebyenjigiriza Michael Ssenkusu Wamu Namyuuka Town Clerk Wa Kira Paddy Kakumba Nga Bali Mu Kanso Yokwanjula Embalirira , Ebaddemu Nokusiima Amasomero Agaakola Obulungi.jpg
Aba Good Foundation Preparatory School Namugongo , Essomero Lyabwanakyewa Eryasinga Mu Munisipaali Ya Kira Okukola Obulungi. Nga Baafuna 100 Percent (3) Nga Babawa Engule Ebasiima..
Akulira ebyenjigiriza mu Kira Munisipaali, Michael Ssenkusu agambye nti amasomero agasinga gaakosebwa nnyo ekirwadde kya Covid 19 era ne gaggalawo, nga kati aga Gavumenti gonna galina omujjuzo. Ono asiimye nnyo amasomero agaakola obulungi era n'abeebaza , n'abakuutira okweyongera amaanyi baleme kuddirira.
Rose Nakafeero Ssukka akulira akakiiko k'ebyenjigiriza ku munisipaali e Kira ye awanjagidde Gavumenti okwongera okutunula ennyo mu kisaawe ky'ebyenjigiriza nga bongera ku basomesa mu masomero, ebizimbe n'ebyetaago ebirala.
Atwala Akakiiko K'ebyenjigiriza Ku Kira Munisipaali Rose Kakafeero Ssukka
Akulira akakiiko k'ebyensimbi ku munisipaali eno Shamim Nalwanga, alaze buli kitongole ssente ezikiteekeddwako , okuli
1. Ebyenguudo 102,643,089,000.
2. Ebyenjigiriza n'ebyobulamu 13,693,309,000.
3. Community based 769,123,000.
Atwala Akakiiko Kyebyensimbi Shamim Nalwanga
4. Administration and statutory 13,432,452,000.
5. Trade Industrial and Local Economic Development 1,166,278,000.
6. Finance Planning and Audit 2782849000.
Ng'omugatte gwonna guwera obuwumbi 136, 929,035,000.
No Comment