Bannakibiina  kya NRM ekyawangula mu Kira batongozza enteekateeka y'okuyiggira Museveni akalululu

BANNAKIBIINA kya NRM abataayitamu mu kamyufu batongozza entekateeka mwebagenda okuyita okuyiggira pulezidenti Museveni akalulu nebakukkulumira bonna abaakola emivuyo egyabaviirako okuwangulwa.

Bannakibiina kya NRM
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

BANNAKIBIINA kya NRM abataayitamu mu kamyufu batongozza entekateeka mwebagenda okuyita okuyiggira pulezidenti Museveni akalulu nebakukkulumira bonna abaakola emivuyo egyabaviirako okuwangulwa.

Bano nga basinziira e Namataba-Kirinnya mu Kira nga bakulembeddwamu eyesimbawo ku kifo kyobwa mmeeya we Kira Jackson Twinomugisha n’eyavuganya ku kifo kya kansala wa LC III Bweyogerere III Majidu Kiwanuka batongozza entekateeka gyebatuumye ‘’Kira NRM Zuukuka’’ okuyiggira pulezidenti museveni akalulu okukakasa nti awangulira waggulu.

Twinomugisha ategezezza nga bwebakooye bannakigwanyii mu kibiina kya NRM abalimbalimba abantu olwo nebabaggya ku mulamwa gw’ekibiina.

Alaze obutali bumativu olw’abamu mu bakulembeze mu NRM abakola ebintu ebirowoozesa abantu nti ekibiina kibi so ng abo bakikola kutuukiriza bigendererwa byabwe nga emivuyo gino gyegimu nekubyaviirako bamemba abamu okusuulibwa mu kamyufu.

Ategezezza nga obukulembeze bwa NRM mu Kira bwbuzze Bukola obulungi emabega wonna kyokka nga kati kyennyamia okulaba nga obuwagizi buno bugenze buddirira olwa banakigwanyizi.

Asabye abakulu mu kibiina okukomawo mu bantu babebuzeeko ku bantu abasinga obuwagizi bebawa bawa kaadi y’ekibiina okusinga okudda mu mivuyo.

Majidu Kiwanuka ategezezza nga bwebatajja kuva mu kibviina kya NRM kubanga ensobi eziri mu kibiina zireetebwa bantu ssekinomu nga ate bino bisobola okugonjoolwa.

Alaze obutali bumativu ku bantu aberonda n’asaba abakulu mu kibiina okuvaayo balwanyise omuze guno kubanga gumalawo ekibiina mu kitundu.

Kiwanuka aweze nga bwebagenda okwongera amaanyi mu kuwagira NRM n’okukakasa nga pulezidenti Museveni awangulira waggulu.

Abam uku betabye ku mukolo guno basabye abakulembeze bonna mu NRM okwogezanga eddoboozi limu kubanga y’engeri yokka gyebajja okunywezaamu obuwagizi bw’ekibiina