Emikisa atudde s6 gy’alina nga yeegasse ku matendekero g’ebyemikono
Mar 19, 2025
OLUVANNYUMA lw’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) okufulumya ebigezo bya S6 ebyalaze nti, abayizi 139,256 bye bitundu 98.8 ku 100 be baafunye obubonero obubasobozesa okufuna ebbaluwa ya S6 era basobola okuyingira amatendekero g’ebyemikono, omuyizi oba omuzadde alina omwana kye kiseera ave mu by’okujaganya okuyita ebigezo, ebirowoozo abizze ku kiddako.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUVANNYUMA lw’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) okufulumya ebigezo bya S6 ebyalaze nti, abayizi 139,256 bye bitundu 98.8 ku 100 be baafunye obubonero obubasobozesa okufuna ebbaluwa ya S6 era basobola okuyingira amatendekero g’ebyemikono, omuyizi oba omuzadde alina omwana kye kiseera ave mu by’okujaganya okuyita ebigezo, ebirowoozo abizze ku kiddako.
Minisitule y’ebyenjigiriza egamba nti, mu kiseera nga yaakazza buggya etteeka erifuga matendekero g’ebyemikono abamu bye bayita eby’omu mutwe, erya TVET Act 2025, omuyizi n’omuzadde basaanye bamanye ku mikisa egy’enjawulo Gavumenti gy’etaddewo eri abanaageegattako ssaako enkizo ey’okwetandikirawo emirimu ng’abayizi bano bafulumyeMu kufulumya ebya S6, Mukyala Museveni yategeezezza nti, Gavumenti yayongedde amaanyi mu matendekero gaayo agali ku mutendera gwa College kati agaweze 15 ssaako ag’Obwannannyini ng’omuyizi wa ddembe okugendayo afune obukugu obw’enjawulo.
Gano kwegattako amatendekero g’eddaala lya satifikeeti agawerera ddala 54 okwetooloola eggwanga nga baamalirizza okuwandiisaayo abayizi abaayingidde omwaka guno nga buli ttendekero lyawandiisizza abayizi abasoba mu 50.
Okwewandiisa okw’abayizi abaamaze S6 abaagala okusoma dipulooma mu matendekero ga TVET aga Gavumenti, Mukyala Museveni yategeezezza nti, Minisitule yaakukukola wakati wa April ne May.
Abayizi abasobola okusaba kkoosi mu matendekero ku ddaala lya College beebo abaayita waakiri essomo limu ku asatu (3) agakolebwa ku ddaala lya Haaya, kyokka n’abo abaayita abiri (2) oba asatu (3) ba ddembe okusaba ne basomera eyo.
ENKIZO Y’ABAYIZI BA TVET
Omu ku bakungu abakulira ekitongole kya TVET mu minisitule y’ebyenjigiriza bwe yabadde ayogera ku nsoma ey’amatendekero gano yagambye nti:
l Omuyizi agayingidde afuna obutendeke obumufuula asobola okuweebwa omulimu oba okwetandikirawo omulimu mu bbanga lya myaka ebiri gyokka.
Kino kitegeeza nti, kiba kitaasizza ku bayizi abangi abafuna diguli mu yunivasite naye nga bagenda kutandika kunoonya mirimu sso si kugyetandikirawo.
l Ekirala yagambye nti, lino kkubo eddala eriyamba omuntu okweyongerayo okusoma mu mbeera nga teyafunye bubonero bugenda mu yunivasite oba nga talina ssente zimala kweyongerayo mu yunivasite. Kino kitegeeza nti, omuyizi asobola okusoma dipulooma, n’atandika okukola oluvannyuma n’agenda nga yeeweerera n’afuna diguli, Masters ne PhD mu kisaawe ky’aba ayagadde.
l Omuyizi atandika okusoma ng’alonzeewo ekyo ky’agenda okukola era n’akisoma n’akikugukamu. Okugeza, okubajja, okuzimba n’ebirala. Agamba nti, kino kimuyamba okubeera ku mulamwa n’okufuna obukugu bwe yeetaaga, sso nga mu nsoma endala abayizi bangi balwawo okulonda kye banaasoma nga n’abamu batera okukyusa kkoosi wakati mu kusoma.
EMIKISA GY’AMATENDEKERO GA TVET
Egimu ku mikisa egiriwo mu TVET ze sikaala 70 eri abayizi bannamukisa abanaasaba kkoosi ez’enjawulo mu matendekero ga Gavumenti 15, nga minisitule yaakuzigaba ng’esinziira ku bubonero bwe baafunye mu bya S6
No Comment