Ekipande ekibadde kikola nga TV nga aba Uganda Olympic Committee kwebagabira abazannyi abaasinze mu 2024 kata kitte omwogezi bwe kyegonnomodde wansi olw’ampewo eyabadde ekunta ng’omukolo gugenda mu maaso.
Baabadde ku Sheraton Hotel mu birabo bya UOC Awards ebisookedde ddala kibuyaga ow’amaanyi bwe yazze n’asitula ekipaande kino okwanadde amataala agacamula emikolo ne kigwa ku siteegi ne kikuba omwogezi Andrew Kabula n’atamalaako mukolo.
Wabula yataasiddwa n’agamba nti teyafunye bisago bya maanyi.
Omukolo okwasiimiddwa bannabyamizannyo 66 omukazi n’omusajja abaasinze mu mizannyo egiri wansi w’akakiiko ka Uganda Olympic Committee (UOC) okuva mu bibiina 33 gwabadde gunaatera okuggwa kibuyaga eyakulembedde enkuba n’akuunta ku kidibakya woteeri eyo ekya Pool Side n’asuula ekipande.
UOC ke bavunaanyizibwa ku mizannyo egiri mu luse lwa Olympics mu ggwanga.
Pulezidenti waako, Don Rukare asiimye abazannyi abaasinze okukola obulungi mu mwaka gwa 2024 n’abasaba okwongeramu amaanyi n’asiima n’abavujjirizi wamu n’abakakiiko kano bonna.
Asiimye n’ebibiina ebiddukanya emizannyo gyonna 34 ebiri wansi waako.
“Wabaddewo ebirabo ebizze bigabibwa aba Uganda Sports Press Association (USPA), Fortbet Awards n’ebibiina ebitali bimu ne Sports Award ekyakatandika naye naffe tutandise. Kiruungi okusiima abazannyi kubanga baddamu amaanyi okukola ennyo. Buli kintu kibaako okusooka era naffe tutandise,” Rukare bwe yategeezezza.
Joseph Sebatindira (10) owa ttena ey’oku meeza ye y’asinze obuto mu baasiimiddwa olwokubeera nnamba emu mu nsi yonna mu muzannya gwa ttena eno mu bali wansi w’emyaka 11.
“Ebirabo bimpadde amaanyi okwongera okuzannya,” Sebatindira bwe yategeezezza.
Ate Husina Kobugabe owa ttena ey’ekyoya yasiimye UOC okutandikawo enkola eno nti kizzaamu amaanyi okusiimibwa ng’obadde tokisuubira.
Mu basiimiddwa ak’ensusso ye Sam Muwonge Mahabba atutte ekya munnabyamizannyo ow’entomo.
Abagenyi bagabuddwa ekijjolo wabula eb’ebikonde tebafunye kirabo wadde nga pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (Moses Muhangi) yabaddewo.
Dominic Otuchet eyakulidde ebirabo ategeezezza nti kyavudde mu kakiiko ka Uganda Boxing Federation (UBF), obutaweereza bawanguzi nga bwe baasabwa.
“Ab’ebikonde bwe banaatuwa abawanguzi nabo bakukwasibwa ebirabo,” Otuchet bwe yategeezezza.
Ebibiina ebyasiimiddwa kwe kuli, emisinde, obuzito, obusaale, amaato, lacrosse, obugaali, rugby, ssabaawa, basketball, embalaasi, golf, judo, pentathrone, okubaka, baseball, ttena eyokukisenge, tawkwondo, ttena eyoku ttaka, hockey, amazina, ebiso, okutambulira ku bupiira, amazina, volleyball, okuwuga, ekigwo n’okuwalaampa enzozi.
Rukare agambye nti ebirabo bino kati kya buli mwaka.
Abaawangudde ebirabo bya UOC:
Omusajja: Joshua Cheptegei (muddusi)
Omukazi: Peruth Chemtai (muddusi)
Ekibiina ekyasinze – UAF (Misinde)
Ttiimu eyasinze mu basajja: Rugby
Ttiimu eyasinze mu bakazi: Kubaka
Abazannyi abaasiimiddwa mu buli muzannyo:
Mr. Abdul Fedha Rakib - Gymnastics
Ms. Sylvia Nakyejwe
Kathleen Noble (Olympian) - Rowing
Mr. Elijah Namunyu
Ms. Lydia Nakidde - Weightlifting
Mr. Davis Niyoyita
Joshua Joshua Cheptegei (Olympian) - Athletics
Peruth Chemtai (Olympian)
Mr. Faisal Nsubuga - Lacrosse
Ms. Ruth Tushemereirwe
Ms. Rahma Kasajja - Archery
Mr. Solomon Semukete
Ms. Husina Kobugabe - Badminton
Mr. Augustus Owinyi
Ms. Hope Akello -Basketball
Mr. Titus Laul
Ms. Miria Nantume - Cycling
Charles Kagimu (Olympian)
Mr. Jackson Adriko-Equestrian
Ms. Miranda Bowser
Mr. Ronald Otile -Golf
Ms. Peace Kabasweka
Ms. Lilian Achola -Handball
Mr. Ignatius Anzoretu
Ms. Zubeda Talikaza Judo
Mr. Fred Ssekate
Mr. Marshal Miro -Modern Pentathlon
Ms. Rashida Najjuma
Ms. Maggie Baagala - Netball
Mr. David Walugembe
Mr. David Matoma-Baseball and Softball
Ms. Jazera Nabalirwa
Ms. Julian Ainomugisha - Squash
Mr. Paul Kasirye Kagoma
Mr. Cranima Wakurwoth - Taekwondo
Ms. Rose Kizza
Mr. Samuel Okello - Tennis
Ms. Patience Athieno
Ms. Winnie Alaro -Hockey
Mr. Jordan Mpiima
Ms. Martha Buyinzika -Canoe
Mr. Musa Bangili
Ms. Sophia Kawala - Dance Sport
Mr. Gilbert Ahebwa
Mr. Kenneth Justine Wasswa - Fencing
Ms. Ruth Pakisa
Mr. Joakim Katende - Shooting
Ms. Cleoptra Mungoma
Ms. Myra Marie Anyango -Skating
Mr. Brian Bukenya
Sir Joseph Sebatindira -Table Tennis
Ms. Parvin Nangonzi
Mr. Jonathan Tumukunde -Volleyball
Ms. Hadijah Otin
Ms. Harriet Akite -Wrestling
Mr. Rogers Mukyeda
Ms. Peace Lekuru -Rugby
Mr. Timothy Kisiga
Mr. Jonathan Ssentongo -Sport Climbing
Ms. Credo Kyasimire
Ms. Gloria Anna Muzito (Olympian) -Swimming
Mr. Jesse Ssuubi Ssengonzi (Olympian)