Bakungubagidde eyaliko maneja wa ttiimu ya Express
Mar 23, 2025
ABAGAGGA b’omu Kampala n’abantu ab’enjawulo bakungubagidde omugagga Edward Mperese Nsubuga, 74, nnannyini wooteeri za Samalien ezisangibwa ku nguudoez’enjawulo mu Kampala.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAGAGGA b’omu Kampala n’abantu ab’enjawulo bakungubagidde omugagga Edward Mperese Nsubuga, 74, nnannyini wooteeri za Samalien ezisangibwa ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala.
Mperese era nga yaliko omuwanika wa ttiimu ya Express, amaze emyaka 15 ng’atawaanyizibwa obulwadde.
Yafi iridde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo ku Lwokubiri. Ku Lwokutaano, omubiri gwe gwatwaliddwa mu kkanisa ya Uganda Martyrs Nakiyanja e Namugongo awaategekeddwa okusaba kw’okujjukira emirimu gye era oluvannyuma gwatwaliddwa
mu maka ge e Jjanda - Namugongo awaakumiddwa olumbe.
Omugagga Drake Lubega yamwogeddeko ng’abadde omusuubuzi ow’amaanyi era
atadde ettoffaali ku byenfuna n’ebyemizannyo mu ggwanga.
Yagambye nti Mperese akutte ku basuubuzi bangi era y’omu ku Bannayugandan abaasooka okusuubula e China.
Yazaalibwa Mityana gye yava okugenda e Kabembe ne Kiwoko u Luweero gye yakulira
ne jjajjaawe Yokana Kizito.
Obusuubuzi yabutandikira Bakijjulula e Luweero nga atandikira mu dduuka ettonotono
n’agenda nga yeerandiza.
Yatandikawo kkampuni ez’enjawulo okuli; Samalie roperties, Fresh Oven Bakery, Samalien Petroleum, Marco Mazie Flour, EM & Sons Importers, ordan Water, Libest
Juice, Samalien Dry Cleaners, Samalien Garments, Victoria Terrace View Theatre ne
ffaamu ya Mbuga Mixed Farm.
Y’omu ku bagagga abaali boogerwako mu myaka gy’e 80 ne 90. Mperese yaliko
omuwanika wa Express FC mu 1990 era ssentebe wa ttiimu y’Ekika ky’Emmamba era mu biseera ebyo ttiimu ezo zaali z’amaanyi. Yasomera Kiwoko P/S ne Kitante Hill School ne yeegatta ku ttendekero ly’engoye erya Uganda Textile Training Institute. Yakolera mu makampuni ag’enjawulo okuli; Uganda Textiles, Nytil ne Lira Spinning
Mills era n’awummula.
Yatandika obusuubuzi mu 1987. Waakuziikibwa ku Ssande e Bakijjulula-Bbowa e Luweero
No Comment