Emmwaanyi;Ku kaawa bagasseeko ebirala bye bazikolamu okugaziya akatale

NGA Uganda oyongera amaanyi mu bulimi bw’emmwaanyi wakyaliwo okusoomoozebwa kw’akatale ng’obuzibu obusinga bwaba Bannayuganda obutettanira kunywa n’okukozesa emmwaanyi ze balima.

Emmwaanyi;Ku kaawa bagasseeko ebirala bye bazikolamu okugaziya akatale
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NGA Uganda oyongera amaanyi mu bulimi bw’emmwaanyi wakyaliwo okusoomoozebwa kw’akatale ng’obuzibu obusinga bwaba Bannayuganda obutettanira kunywa n’okukozesa emmwaanyi ze balima.
Ebiwandiiko bya minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi biraga nti ebitundu 5 ku 100 byokka eby’emmwaanyi ezirimibwa mu Uganda byebikozesebwa mu Uganda ekikyali ekitono ennyo ku nsi yonna erima emmwaanyi. Kino kitegeeza nti emmwaanyi za Uganda zirina kutundibwa bweru wa ggwanga nga bwezikungulwa.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwe yali ku kitebe ekikola ku kunoonyereza ku mmwaanyi mu Uganda ekya
National Coffee Research Institute (NaCORI e Kituuza mu Mukono yakubiriza Bannayuganda okwettanira okunywa kaawa olw’emiganyulo egizifumbekeddemu.
Evans Atwijukire omunoonyereza n’ekitongole ekikola ku kunoonyereza n’okutumbula emmwaanyi mu Uganda ekya National Coffee Research Institute (NaCORI) okuyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku birime mu ggwanga ekya National Agricultural Research Organisation (NARO), agamba nti ng’eggwanga kyetaagisa okwongera ku kukozesa emmwaanyi zaffe.
“Olw’obutanywa n’okukozesa ebiva mu mmwaanyi zaffe nga Bannayuganda, kizibu okubeera n’okusalawo ku bbeeyi y’emmwaanyi zaffe ku katale k’ensi yonna kuba tetulina katale kalala okuggyako akaabwe”, bw’agamba.
Agamba nti obuzibu bwonna buva ku nnono eyasigibwa mu Bannayuganda nti emmwaanyi kirime kya kutundibwa kujjamu ssente so ssi kulya. N’olwekyo buli azirima aziraba nga ssente nga n’okujjako kkiro enywebwe awaka akiraba nga kifiirwa ssente ekirina okukyusibwa.
Wabula n’enkyukakyuka ezizze mu nsi yonna, eggwanga litandise kaweefube w’okwongeza okukozesa emmwaanyi awaka ate n’okugattako omutindo.
Wano gavumenti ng’eyita mu kitongole kya NaCORI omulimu gw’okunoonyereza n’okuvumbula ebintu by’enjawulo ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo ebisobola okukolebwa okuva mu mmwaanyi.
“Mu nteekateeka eno ng’ekitongole tulina okuvaayo n’ebisobola okuyamba okwongeza amakungula n’okukozesa emmwaanyi mu ggwanga mu ngeri y’okukyusa ebintu ebikolebwa awaka okudda mu biyingizibwa okuva mu mawanga gw’ebweru”, bw’agamba.
Mu birina okukolebwa mulimu okufulumya ekiba by’emmwaanyi ebibala n’okugumira obulwadde okusinga ebiriwo, okukola ebintu eby’enjawulo okuva mu miramwa gy’emmwaanyi n’ebitundu byazo ebirala ng’ebikoola.
EMIGASO GY’EBIKOLEBWA MU MMAANYI
Ebikolebwa mu mmwaanyi birina emigaso gy’obulamu okuli okukendeeza obulwadde bw’omugejjo, obulwadde bw’okussa, okusannyalala, okulongoosa olususu n’ebirala ebisobola okukolebwa mu bintu eby’enjawulo.
EBIVA MU MMWAANYI
Atwijukire annyonnyola nti emmwaanyi zirina ebiringo eby’enjawulo ebisobola okukozesebwa mu by’okulya n’okunywa kwossa ebikozesebwa okuyooyoota ensusu nga bino by’ebimu ku bintu ekitongole bye kitandise okukola mu kaweefube w’okutumbula okukozesa emmwaanyi mu ggwanga
1 Yogati: Ekitongole kya NaCORI nga kikolagana n’ekiyamba okutumbula amakolero n’ebikolebwa ekya Uganda Industrial Research Institute (UIRI) kitandise okufulumya Yogati atabuddwamu ekirungo ky’emmwaanyi.
“Olw’okuba Bannayuganda ssibanywi ba kaawa ava mu mmwaanyi, ng’ekitongole twatandise okukola Yogati agattiddwamu ebirungo by’emmwaanyi n’ekigendererwa ky’okwongera abantu okunywa kaawa ekiseera kyonna nga tekimwetaagisa kusooka kuyingira ffumbiro”, bw’agamba.
2 Keeke: Ekirala ekikoleddwa ky’ekirungo ekitabulwa mu kkeeke ng’abafumbi baazo basobola okukissaamu olwo abali baazo ne bawoomerwa akawoowo n’eddekende ly’emmwaanyi eribeera lifumbekeddemu.
3 Ebizigo n’ebikozesebwa mu kuyooyoota olususu lwa feesi: Ekitongole kitandise okufulumya ebizigo mu losoni ne kuliimu omutabuddwa emmwaanyi. Emmwaanyi zirimu ekirungo ekiyamba olususu obutakaddiwa, okuwonya ebiwundu kwossa okutangira obulebe okuva ku kasana kwossa ebikozesebwa okuyooyoota olususu.
“Emmwaanyi mwe mukolebwa ebizigo n’ebikozesebwa ku feesi eby’ebbeeyi (300,000/- n’okudda waggulu) kyokka nga babeera batabuddeko emmwaanyi ntono nnyo ze batugulako wano layisi ate ne baddiza ebizigo ku bbeeyi.
4 Swiiti; Kkampuni ezikola swiiti zitandise okukolayo ez’ebika omuli akaloosa ka kaawa era swiiti oyo abeera muwomu.
Tulowooza nti kino kyakuwa Bannayuganda ebintu by’omutindo ate ku beeyi ya wansi”, Atwijukire bw’agattako.