Gavumenti eyagala abatabula ebizigo mu bukyamu basibwe emyaka 10

Gavumenti eyagala abatabula ebizigo mu bukyamu basibwe emyaka 10
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Bizigo #Gavumenti #Kutabula #Myaka 10 #Bukyamu

GAVUMENTI ewagidde ebbago erireeteddwa okulung’amya enkola n’enneeyambisa y’eddagala wamu n’ebyesiigibwa ku nsusu (National Drug and Health Products Authority Bill, 2025).

 

Ssinga lifuuka etteeka, kigenda kumalawo obumulumuulu obubadde mu bamu ku bakwatibwako okumala emyaka 15 nga baliwakanya okuleetebwa.

 

Bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’obulamu okwanjula ebbago lino eryaleetebwa mu palamenti gye buvuddeko, minisita w’eby’obulamu Jane Ruth Acheng agambye nti lino lireeteddwa okulaba nga balung’amya okukola, okusaasaanya, okukukusa, okuyingiza mu ggwanga eddagala n’ebizigo eby’obulabe eri Bannayuganda.

 

Mu bbago lino, gavumenti eyagala kuggyawo kitongole kya National Drug Authority kisikizibwe National Drug and Health Products Authority nga muno baakulungamya National Drug Policy and Authority Act wamu ne Food and Drug Act ebijja okuyambako mu kwekenneenya eddagala n’ebikozesebwa ebiyingira eggwanga n’ebikolebwa wano.

 

Gavumenti era eyagala oyo yenna atunda oba akola ebizigo eby’obulabe oba ebitakkirizibwa kukozesebwa asibwe emyaka 10 ate abo abeenyigira mu kuleeta ebitakkirizibwa wano ajja kukakibwa okubizzaayo mu ggwanga gy’abiguze ku nsimbi ezzize.

 

Ssentebe w’akakiiko kano, Joseph Ruyonga ategeezezza ng’abantu bwe bavuddeyo okulaga obwetaavu bw’ebbago lino nti abaagala okukubaganya ebirowoozo bangi ate nga balina ennaku 45 okulizzaayo mu palamenti ate nga akaseera ke kamu nabo balina okuwenja akalulu.

 

Minisita Acheng agambye nti nabo baagala lino likolebweko mu bwangu olw’omulanga gw’abantu abakaaba olw’okuferwa ebintu ne bitabakolera naddala abeefuula abatabuzi b’ebizigo ate nga ebintu tebabisoma.

 

Mu kawaayiro aka 64, omulundi ogusookedde ddala gavumenti eyagala abo abali mu mulimu gw’okutabula ebizigo nga bawandiisiddwa bonna era buli anaasangibwa ng’agwenyigiramu awatali bbaluwa emukkiriza kukola asibwe emyaka 10 oba okusasula fayini ya bukadde 10.