Nnamukadde abanja kyapa kye

NNAMUKADDE Samuel Kawuba 93, ow’e Bbanda Bugenderaddala, Mukono mu Nakisunga, Mutuba I Kyaggwe, mweraliikirivu ku bagambibwa okubeera bannannyini ttaka b’agamba nti baamufera okumukolera ekyapa okuva mu kibanja kye kati giweze emyaka etaano bukya bamulimba.

Muzeeyi Samuel Kawuba.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NNAMUKADDE Samuel Kawuba 93, ow’e Bbanda Bugenderaddala, Mukono mu Nakisunga, Mutuba I Kyaggwe, mweraliikirivu ku bagambibwa okubeera bannannyini ttaka b’agamba nti baamufera okumukolera ekyapa okuva mu kibanja kye kati giweze emyaka etaano bukya bamulimba.
Kawuba agamba nti yagula ekibanja mu 1963 okuva ku Yoseph Mukasa ku nnusu 700/- eyamutwala ewa eyali akuuma ettaka Tina Bakanansa n’amukakasa okutandika okukikolako okutuusa mu 2020 abavubuka bana lwe bajja nga bagamba be bannannyini ttaka.
Kuno kwaliko Steven Bazannye n’abalala eyagamba nti be bavunaanyizibwa ku ttaka lino era baamuwa obuyinza okulirabirira. Yakola endagaano naye n’amuwaako yiika ssatu ne Decimolo 65 ze baamugamba nti bagenda kumuweerako ekyapa.
Muzeeyi Kawuba agamba nti bakkiriziganya okumuwa ekyapa kye oluvannyuma lw’okukakasibwa okuva ku ssentebe nti ddala be bannannyini abatuufu. Agamba nti baamuwa ekiseera kya myezi esatu okulaba nga kimuweereddwa kye yasanyukira.
Kawuba yategeezezza nti atambudde kati emyaka etaano ng’abanja ekyapa kyokka bano beeremye okukimuwa. Ronald Luutu mutabani wa Kawuba yagambye nti bwe baakola okunoonyereza ku ttaka lino nga liri mu mannya g’akola ku nsonga z’abafu nga teri alivunaanyizibwako ky’agamba nti baandiba baamulimba olw’okuba ekyapa ekyogerwako tekiri mu mannya gaabwe.
Ssentebe w’ekitundu Christopher Ssekajja bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti ye yakola nga omujulizi mu nsonga zaabwe nga baawaaba n’ensonga mu kakiiko k’ebyettaka ak’omu maka g’omukulembeze w’eggwanga