Owa Nup gwebabbyeko kaadi awotose mu kusunsulwa e wakiso

MUNNAKIBIINA kya NUP Edson Kato abadde azze okusunsulwa ku bwa kkansala bwa Nansana West ward aguddewo ekigwo oluvannyuma lw'okutegezebwa nti akabonero ka NUP katwaliddwa omuntu omulala.

Edson Kato atasunsuddwa
By Kiragga Steven
Journalists @New Vision
MUNNAKIBIINA kya NUP Edson Kato abadde azze okusunsulwa ku bwa kkansala bwa Nansana West ward aguddewo ekigwo oluvannyuma lw'okutegezebwa nti akabonero ka NUP katwaliddwa omuntu omulala.
 
Kato nga yakwatidde NUP bendeera azze yenanise nga bwayimba enyimba ezisusuuta ekibiina kye olutuuse ku mmeeza ewasunsulibwa abaagala ebifo byo bukulembeeze e Wakiso kwekutegezebwa nga akwatidde NUP bendeera bweyasunsuddwa edda ekintu ekintu ekimuggye enviiri ku mutwe 
Matovu Joseph

Matovu Joseph

 
Kato Edson alumirizza Galiwango Roger's okukozesa olukujjukujju najingirira sitampu ye kibiina neyewandisa kyokka nga siyemutuufu n'awera okuddukira ewa Ssabawandiisi wa NUP okuyingira munsonga zaabwe.
 
Ye Tolbert musinguzi akulira akakiiko ke byokulonda mu Wakiso asabye ebibiina by’obufuuzi okubawa enkala za bantu abatuufu bebakwasa kaadi zaabwe
Keith Saali

Keith Saali

 
Leero akakiiko ke byokulonda e wakiso kasunsudde abegwanyiiza ekifo kyo bwa Ssentebe bwa divizoni ye Nansana ne bakkansala ku mutendera guno.
 
Mubasunsuddwa kuliko Isaac keith Ssali ali ku bwa namunigina,Sam Mugabi owa NRM,Ssalongo Joseph Matovu owa NUP nga buli omu ayagala abatuuze be Nansana okumwesiga abeere Ssentebe wa divizoni eno.