Batenderezza omukululo gw'omugagga Mperese
Mar 24, 2025
ABASUUBUZI ne bannabyamizannyo beeyiye e Luweero okuziika omugagga Edward Mperese Nsubuga gwe baatenderezza ng’abadde ow’enjawulo asobodde okussa ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision
ABASUUBUZI ne bannabyamizannyo beeyiye e Luweero okuziika omugagga Edward Mperese Nsubuga gwe baatenderezza ng’abadde ow’enjawulo asobodde okussa ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga.
Omugenzi alese emmaaliokuli; ebizimbe wakati mu kibuga n’ebbali waakyo ebibalirirwamu obuwumbi. Yaziikiddwa ku kyalo Bakijjulula - Bugungu mu Luweero eggulo ku Ssande.
Yafa ku Lwakubiri mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde. Aba ffamire baategese okusaba
okw’okwebaza olw’emirimu gye yakola nga kwabaddewo ku Lwakutaano mu kkanisa ya Uganda Martyrs e Namugongo. Okusaba kwakulembeddwaamu Omusumba Michael Wasswa eyakuutidde abantu okweyisa obulungi nga balabira ku Mperese alese omukululo ogulabika. Christine Nalwoga nga ye yakulembedde abaana b’omugezi
yeebazizza buli muntu eyafuddeyo okujjanjaba kitaabwe kubanga alwalidde ebbanga
eddene. Yategeezezza nti kitaabwe abakoleredde era buli kintu abadde akibaagaliza.
Eggulo, ssentebe w’abagagga bannanyini bizimbe mu kibiina kya Bagagga Kwagalana, Godfrey Kirumira yaweerezza obubaka obwatenderezza omugenzi Mperese nti abadde kyakulabirako kirungi eri emiti emito mu kukola n’okukulaakulanya eggwanga. Omubaka yabutisse mutabani we, Gideon Kabuye Kirumira obwalaze nti omugenzi abadde wa njawulo mu bintu bingi. Nti mu busuubuzi akutte bangi ku mukono ate mu byemizannyo nawo abadde wa njawulo nnyo. Yawaddeyo amabugo ga 500,000/-.
Ssentebe wa KACITA, Thadius Musoke Nagenda yategeezezza nti Mperese ayambye bangi okumanya obusuubuzi era ye omu ku baagala abasuubuzi abato okukola n’okugenda ebweru w’eggwanga.
Omugagga Francis Drake Lubega yagambye nti Mperese yalaga bangi ekkubo ly’okugenda okusuubula e China n’amawanga amalala.
Mu byemizannyo, Mperese yaliko omuwanika wa ttiimu ya Express era ku lw’abaaliko abazannyi b’omupiira, George Ssimwogerere, yamutenderezza olw’okuteeka ssente mu mizannyo. Eyaliko sentebe wa Express, Kavuma Kabenge yagambye nti omugenzi amumanyidde emyaka egisoba mu 40 n’asuubizza obutalekerera ffamire. Namwandu Rhoda Kobusingye Mperese yeebazizza bonna abamukwatiddeko mu kujjanjaba bba naddala mu myaka omukaaga egisembyeyo ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’ensigo.
Abadde alina amaka ag’ebbeeyi agasangibwa e Jjanda Namugongo gye baakungubagidde oluvannyuma gye yaggyiddwa n’atwalibwa e e Bakijulula - Bbowa e Luweero ku bigya gye yaziikiddwa.
EBYOBUGAGGA by ’alese
l Ekizimbe ku William Street okumpi n’eggombolola ya Kampala
Central okuli Tarnet Hotel.
Ekizimbe okuli Beeting e Wandegeya. l Amayumba e Kawempe l Essundiro ly’amafuta erya Samalien e Kawempe okumpi ne Growers.
l Kkampuni ya Samalien omuli woteeri n’ebyobugagga ebirala.
l Ebyuma ebikuba obuwunga.
l Kkampuni y’emigaati eya Fresh Oven Bakery.
l Kkampuni ekola amazzi ga Jordan Water
l Mbuga Mixed Farm.
l Kkampuni eziyingiza ebyamaguzi mu ggwanga.
No Comment